Amawulire

Enkuba efukumuse n'esalako amakubo g'e Luweero : Abattakisi bongezza ebisale!

ENKUBA efukumuka esazeeko enguudo ezisinga mu disitulikiti ya Luweero olw'amazzi okwanjaalira mu makubo ekikaluubizza entambula.

Enkuba efukumuse n'esalako amakubo g'e Luweero : Abattakisi bongezza ebisale!
By: Samuel Kanyike, Journalists @New Vision

ENKUBA efukumuka esazeeko enguudo ezisinga mu disitulikiti ya Luweero olw'amazzi okwanjaalira mu makubo ekikaluubizza entambula.

 

Abasaabaze abasinga bakaaba olw'abeebidduka okwongera emiwendo nga beekwasa enguudo embi sso nga abasuubula ebintu omuli emmere nabo amakubo bageesambye olw'amazzi agasazeeko amakubo ekiyinza okuvaako emmere okulinnya.

 

Emmere y'amatooke eriisa obubuga Luweero ne Wobulenzi esinga kuva Nakaseke kyokka omugga Lugogo okusala kitiisizza abasuubuzi okuleeta emmere.

 

Aba bodaboda nabo batya okusala emigga gino okutwala abasaabaze abavubuka abatatya mazzi ne bagufuula omugano okwetikka abantu n'okusaza pikipiki ne basaba wakati wa 1,000/= ne 2,000/=

 

Entambula okuva e Luweero okudda e Kampala nayo yakalubye olw'amazzi okusala e Wobulenzi ekyaleese omugotteko gw'ebidduka ne jjaamu era ebisale ne birinnya okuva ku 8,000/- okutuuka ku 10,000= ku badda e Kampala.

 

Abatuuze basabye gavumenti okubakolera enguudo n'okussa ebigoma ebyegasa mu migga amazzi galeme kusala.

Tags:
Nkuba
Kufudemba
Kufukumuka