Amawulire

Omukazi abadde aweese bbebi we ng’ayanika engoye ku waya agudde mu kinnya kya kazambi ne bafiiramu.

OMUKAZI abadde aweese bbebi we ng’ayanika engoye ku waya agudde mu kinnya kya kazambi ne bafiiramu.

Omukazi abadde aweese bbebi we ng’ayanika engoye ku waya agudde mu kinnya kya kazambi ne bafiiramu.
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUKAZI abadde aweese bbebi we ng’ayanika engoye ku waya agudde mu kinnya kya kazambi ne bafiiramu.

 

Entiisa eno ebadde ku kyalo Binyonyi A mu Divizoni ya Nyendo- Mukungwe mu Masaka City ku Lwokubiri.

 

Eyafudde ye Haula Nassaka ng’abadde akola ku mobile money ku luguudo lw’e Villa. Nassaka abadde asula ku nnyumba z’omugagga Steven Muwonge era akabenje akaamusse we yakafunidde.

 

Kigambibwa nti yava mu bitundu by’e Kalungu okusenga mu Nyendo.

 

Ssentebe w’ekyalo kino, Florence Nantongo yategeezezza nti yasoose kuwulira nduulu n’alowooza nti waliwo ababbi kyokka bwe yasindise abaana balabe ekibaddewo be baamutegeezezza nti waliwo agudde mu kinnya, kwe kutemya ku poliisi ereese ekimotoka okubannyulula.

 

Yagambye nti olw’omugotteko mu kifo kino emmotoka ya poliisi yabadde terina w’eyinza kuyita naye era baatetenkanyizza okulaba nga bannyulula ababiri bano naye eby’embi baabadde bamaze okufa. Nassaka yasangiddwa n’omwana we ng’akyali ku mugongo nga yabadde amuwekesezza ttawulo.

 

Nantongo agamba nti ekinnya kino kibadde kizibu okumanya nti weekiri kuba wabaddewo akalimiro mwe baateeka enva endiirwa era nga kiteeberezebwa nti okuteeka ettaka ku kinnya kino kyaviirako seminti okuggwaamu amaanyi n’enkuba ebadde etonnya ensangi zino nga bye byaviiriddeko okugonda ne kigwamu nga bakirinnyeeko.

 

Ssentebe wa LCII mu Nyendo, Joseph Kisirinya Gonzaga akabenje kano yakatadde ku bulagajjavu obw’abakozi b’e kibuga Masaka naddala abatwala ebyobulamu be yagambye nti tebafuddeeyo kulambula mayumba abantu mwe basula okukakasa nti gali mu mbeera nnungi.

 

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye yagambye nti emirambo baagitutte mu ddwaaliro ekkulu e Masaka okusobola okwongera okwekebejjebwa okuzuula ekyavuddeko okufa.


Kasirye yategeezeza nti waliwo abantu be baakutte bayambeko okubaako bye batangaaza poliisi ku kyabaddewo nga kuno kwe kubadde ne nnannyini nnyumba Muwonge.

Tags:
Amawulire
Kinnya
Mukazi
Ngoye
waya
ngoye