Amawulire

Pulezidenti Museveni awadde bannaddiini amagezi

PULEZIDENTI Museveni asabye bannaddiini okukyusa abakkirizza bye basumba okusinziira ku bye bakola singa waakubaawo enkulaakulana mu bbo.

Pulezidenti Mueveni, Musumba Kayanja ssaako omusumba wa Trump nga bali ku Ku miracle Center
By: Ssuuna Peter, Journalists @New Vision

PULEZIDENTI Museveni asabye bannaddiini okukyusa abakkirizza bye basumba okusinziira ku bye bakola singa waakubaawo enkulaakulana mu bbo.

Bino yabyogeredde mu lukungaana lw'enjiri n'okusabira abakulembeze olwatuumiddwa command the future, ku kkanisa ya Miracle Center Cathedral e Lubaga ey'omusumba Robert Kayanja.

Museveni mu kwogerakwe, yagambye nti newankubadde Yesu Krisito yakolanga eby'amagero ng'okuwonya abantu n'okubazuukiza naye ate yeenyigira mu kukola Kuba yakolanga mu bbajiro lya kitaawe Yozefu, nolwekyo n'asaba abalokole obuteemalira mu kubuulira njiri yokka wabula n'okukola emirimu egivaamu ssente.

Yeebazizza Omusumba Kayanja okutandikawo emirimu egiyamba abavuka n'agamba kati awo atandise okutambulira mu kkubo lya Katonda.

Pulezidenti yagambye nti yakola nnyo okulaba ng'abalokole tebawerebwa mu ggwanga nga waliwo abagamba nti baabulimna n'abagamba nti Katonda y'ali balamula kuba ye si talina buyinza obwo kyokka yabalabula obuteenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Yayongeddeko nti naye kata abeere omusumba olw'okuba mu gye 1960 yasomanyo bbayibuli gye yagambye nti kati y'emuyamba okukola eby'obukulembeze by'alimu.

Nga yaakatuuka, yasoose kuggulawo ggeeti y'ekkanisa oluvannyuma n'asabirwa abasumba ab'enjawulo okwabadde Jesica Kayanja, Pr.Dr Paula White, Major General Daniel York, omusumba Kayanja n'abalala era abasabidde Uganda.

Kayanja yategeezeza nti ng'abalokole baali baavu ate nga basabira mu biwempe ne yeebaza Museveni eddembe ly'okusinza lye yabawa, Ono era yamusiimye n'okutebenkeza eggwanga n'ebyokwerinda.

Yamutegeezezza nti ekkanisa ye kati ewa abavubuka emirimu nti yatandikawo n'ekyuma ekikola emmere y'enkoko ekyongedde okubayamba okwekulaakulanya.

Paula White oluvannyuma naye yabuulidde abakkiriza okubeera n'ebiruubirwa ebyemaanyi singa baakukulaakulana.

Olukungaana luno lwakumala ennaku ttaano nga lwetabiddwamu abasumba n'abakulembeze okwotoloola ensi okuva mu USA, UK, Gabon, Kenya, Zambia n'awalala.

Lugenderedde okubangula abantu mu by'obukulembeze, ssaako okubabuulira enjiri.....

Tags: