OMULABIRIZI Ssaalongo David Kiganda asabye abantu okukolagana n'emikwano emituufu kuba waliwo egijja mu bulamu bw'omuntu n'ebigendererwa eby’enjawulo.
Kiganda ow’ekkanisa ya Christianity Focus Center esangibwa e Mengo mu kisenyi mu Kiganda zzooni yagambye nti waliwo emikwano egiyingira mu bulamu bw'abantu n'ebigendererwa eby’enjawulo.
Yayongeddeko nti nga omulokole, tosobola kufuna mukwano gunywa mwenge kuba essaawa yonna gusobola okukusikiriza n'otaniika ebikolwa ebikyamu.
Yagasseeko n'asaba abantu okukomya okukola ebikolobero ku lunaku lwa ssekukkulu kuba luba lunaku lwa mazaalibwa ga Yesu ate era n’asaba n'abantu okukomya okukola ebintu olw'okukyamuukirira.
Yawadde eky'okulabirako nti bw’oba tolina ssente nga tonywa mwenge lwaki bw’ozifuna osikirizibwa okugunywa.