SSAABASUMBA w’Abasodookisi Metropolitan Jeronymos Muzeeyi asabye wabeewo emirembe n’okwagalana ng’eggwanga lyetegereka okulonda abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo kusobole okuggwa obulungi nga tewali kunyigiriza na kusika mugwa.
Bwe yabadde akulembeddemu okusaba kwa Ssekukulu mu Eklesia ya St Nicholas e Namungoona, Ssaabasumba Muzeeyi yagambye nti okuzaalibwa kwa Kristo kutwalibwa nga akabonero akalaga okwagalana naddala mu kiseera ng’eggwanga lyetegekera okulonda abakulembeze.

Abamu ku bantu abaabaddeyo mu kusaba
Yagambye nti ekiseera ekyókulonda abantu bagenda kulonda abantu ababali ku mitima gyabwe mu ngalo n’ababai ku birowoozo nga kino okukikola balina okubeera mu mirembe egya namaddala kuba ekitabaawo kivaamu okulwanagana, obutabanguko n’entalo okulowoozesa nti bye bayiiyiza okutereeza eggwanga so nga okwagala kwe kukulemberamu.
Yasabye abalina amaanyi obuteefaako bokka n’okunyigiriza abalala nga balowooza nti ensi yaabwe nti kino tekiyamba kuba abantu bonna balina okuyisibwa kyenkanyi baganyulwemu.
Ye Omusumba w’Abasodookisi owa Jinja n’obuvanyuba bwa Uganda, Silvester Kisitu yasabye kyonna ekisoboka okulonda okubindabinda kubeeremu emirembe abantu absobole okulonda abakulembeze baabwe n’obuvunaanyizibwa.
Yasabye abantu okusonyiwagana naddala abali mu makomera bwe kiba kisoboka basonyiyibwe basobole okufuna obulamu obulala obutali bwa kkomera kuba Katonda azze ku lunaku lwa Ssekukulu okubeera ekitangaal eri buli omu n’Okuleeta essanyu.