Amawulire

"Mweggyeemu okutya kuba Yesu azaaliddwa ku lwaffe"

Ku kitebe ky’Obusumba bw’e Kawanda ku kkanisa ya St. James Kawanda Church esangibwa mu Bussabadinkoni bw’e Kazo mu Bulabirizi bw’e Namirembe, Omusumba Samuel Ssekubunga bw’abadde awa obubaka bwe eri abakirizza agambye nti balina okukimanya nti gano amaazalibwa ga Yesu Kristo malungi nga balina okweggyamu okutya.

By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

Ku kitebe ky’Obusumba bw’e Kawanda ku kkanisa ya St. James Kawanda Church esangibwa mu Bussabadinkoni bw’e Kazo mu Bulabirizi bw’e Namirembe, Omusumba Samuel Ssekubunga bw’abadde awa obubaka bwe eri abakirizza agambye nti balina okukimanya nti gano amaazalibwa ga Yesu Kristo malungi nga balina okweggyamu okutya.

Omusumba Samuel Ssekubunga ng'asembeza Abakristaayo.

Ssekubunga agambye nti ennaku zino abantu bali mukutya olw’ebyobufuzi ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Ono akalaatidde abakkiriza okugenda okulonda ate beewale okukyawa banaabwe olw’eby’obufuzi.

Ssekubunga ajjukizza abakirizza aba katonda nti okuzaalibwa kwa Yesu kuleeta nkyukakyuka mu maka nga kw’otadde n’eggwanga.

Tags:
Amawulire
Kutya