Amawulire

Paasita Kayanja asabye abantu okutereka ssente ezinaabayamba mu maaso

OMUSUMBA w'ekkanisa ya Miracle Center Cathedral Lubaga, Robert Kayanja asabye abantu okufuna empisa y'okutereka ssente ezinaabayamba mu biseera by'omu maaso okusinga zonna okuzimalira ku mumwa.

Paasita Kayanja asabye abantu okutereka ssente ezinaabayamba mu maaso
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

OMUSUMBA w'ekkanisa ya Miracle Center Cathedral Lubaga, Robert Kayanja asabye abantu okufuna empisa y'okutereka ssente ezinaabayamba mu biseera by'omu maaso okusinga zonna okuzimalira ku mumwa.

Bino Kayanja yabyogeredde mu kusaba kwa Ssekukkulu ku kkanisa ye n'akuutira Bannayunda okweyigiriza empisa eno ssinga baakubaako ne kye bakola eky'amakulu. Ono era yabasabye okwewala omuze gw'okusabiriza n'abakubiriza okukola okweggya mu bwavu.

"Tulabye mu kkampeyini ng'abantu abamu bakubibwa era ensonga eno tuzze tugitwala eri ab'obuyinza era ababikola tusaba balekere awo". Kayanja bwe yagambye mu kusaba ng'ayogera ku bigenda mu maaso mu ggwanga.

Yagambye nti Pulezidenti Museveni azze akyogera lunye ku baserikale abakuba abantu era bamanyi w'ayimiridde ku ddembe ly'obuntu. Eby'okukuba Bannayunda bye bimu ku bifaananyi ebikyamu ebisiigibwa abeebyokwerinda eri amawanga amalala.

Yategeezezza nti abantu tebateekeddwa kukubwa nga bya kuttale wabula okubawa endagiriro entuufu ku wa gye bateekeddwa kugenda okusinga okubatimpula.

Yabasabye okuwa abantu eddembe lyabwe okulonda gwe baagala okubakulembera n'akubiriza Bannayunda okwenyigira mu kulonda kw'omwaka ogujja.

Tags:
Amawulire
Maaso
Paasita Kayanja
Ssente
Kusaba
Kuyamba