Engyeri gy'osobola okusimattuka okubeera omugumba

ABAAGALANA n’abafumbo bangi ababulwa ezzadde ne kireetawo obunkenke mu maka, ate nga businga kussibwa ku mukyala.

Maama ng’ayinsa omwana we.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAAGALANA n’abafumbo bangi ababulwa ezzadde ne kireetawo obunkenke mu maka, ate nga businga kussibwa ku mukyala.
Omusawo w’abakyala okuva ku ddwaaliro lya Mulago Specialized Women and Neonatal Hospital, Dr. Gideon Mugisa, agamba nti, okulemererwa okufuna omwana mu ngeri eya bulijjo, omwami akivunaanyizibwako ebitundu 50 ku buli 100, n’omukyala bwatyo.
Dr. Mugisa annyonnyola nti: Omukyala ow’emyaka 35 n’okudda wansi bw’aba ne bba okumala omwaka mulamba nga tafuna lubuto, awatali kukozesa nkola yonna eteekerateekera amaka, asaana okugenda mu bakugu bamwekebejje bazuule obuzibu we buva.
Wabula asussa emyaka 35, ye batandika okweraliikirira wamu n’okumugamba okugendako mu bakugu okumwekebejja nga yaakamala ne bba emyezi 6 gyokka.
SSAAYANSI NE TEKINOLOGIYA AZAAZISA OMUKYALA NGA TEYEEGASSE NE BBA
Waliwo enkola ey’ekikugu eyitibwa ‘in vitro fertilization (IVF)’ ereeta essanyu ly’ezzadde eri abafumbo abalemereddwa okufuna omwana mu ngeri eya bulijjo.
Dr. Sarah Namubiru, omukugu mu by’okuzaala n’enkola za ffamire nga y’akulira eddwaaliro lya Teguzibirwa Community Health Center III e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalungu, agamba nti, enkola eno eyamba omukyala okufuna olubuto n’okuluzaala naye nga teyasooka kwegatta na bba era mu Uganda weeri.
Wabula oyita mu mitendera ng’omusajja akeberebwa okulaba ng’alina enkwaso ez’omutindo, ezimala, era ezirina obusobozi okutonda omwana nga zisisinkanyeeggi ly’omukyala.
N’omukyala bakwekebejjaokuzuula oba nnabaana wo asobola okuzaala amagi ag’omutindo omulungi agasobola okukola omwana. Batunuulira n’ebirala okuli; emyaka gyo, enseke, endwadde n’ebirala okukakasa nti, tewali kisobola kukulemesa nnabaana wo kuzaala magi.
Kyetaagisa amagi g’omukyala mangi okumufunyisa olubuto mu nkola eno. Era aweebwa eddagala erisobola okukuza amagi amangi omulundi gumu, okusobola okufuna obungi bw’amagi ageetaagisa.
Eddagala lye bakuwa olikozesa wakati w’ennaku 6-10, ate bwe litumbula amagi ne gazaalibwa mangi, basooka ne bakulondoola
BW’OBUUKA EMIZIZIKO GY’OKUBA OMUGUMBA
okulaba enkula yaago n’okumanya embeera gye galimu. Bwe gatuuka ku ssa kwe geetaagirwa, abasawo bagaggya mu nnabaana ne balondamu ag’omutindo ne bagagatta n’enkwaso za balo.
Enkwaso bwe ziba tezisobola kugayingiramu, abasawo basobola okuzigakubamu obutereevu nga bakozesa empiso.
Oluvannyuma nga buli kimu kiteredde era nga gatuuse okukola omwana, abasawo bagazza mu nnabaana wo okusinziira ku muwendo gw’abaana b’oyagala n’emyaka gy’olina.
Nga bagazzizzaamu olwo bakulondoola okulaba omwana bw’akula n’okukuwa eddagala erimuyamba okwekwata mu lubuto. Wabula Dr. Mugisa agamba ntiomwami n’omukyala mulina okuba nga mukwatagana ate nga mulina obugumiikiriza.
ABASAANYE OKWEKWATA ENKOLA ENO
Dr. Namubiru agamba nti, waliwo abalina embeera ezitabaganya kuzaala bulungi nga balina kweyunira nkola eno, omuli:
l Omuntu yenna ng’ayagala okuzaala naye nga tasoba kufuna lubuto ng’asoose kwegatta n’omusajja we.
l Abakyala abaazibikira enseke.
l Abakyala be baasala enseke, ng’ayagala addemu okuzaala.
l Abakyala abakuliridde mu myaka nga nnabaana takyazaala magi.
l Nnamwandu ayagala okuzaala nga teyeegasse na musajja mulala.
l Abakyala abalina endwadde ezoonoona n’okuziba enseke naddala ez’ekikaba ng’enziku eyasajjuka n’endala.
l Abakyala ng’obwongo bwabwe tebukyasobola kuweereza mubiri bubaka kuzaala magi.
l Dr. Mugisa agamba nti, olumu ekizibu kiyinza okubeera ku musajja ng’amazzi g’afulumya tegabeeramu nkwaso.
l Ate olulala omusajja amazzi g’afulumuya tegabeeramu nkwaso zimala kufunyisa mukyala lubuto.
AMATIGGA AGALI MU KUFUNA OLUBUTO MU NKOLA ENO
Singa obeera osazeewo ofune olubuto mu nkolaeno, waliwo ebintu Dr. Namubiru by’agamba by’olina okufaako, okuli:
1 Eddagala eryaluza amagi amangi omulundi ogumu, litera okuleetera olubuto okwepika, obulumi wansinsi mu lubuto, okunyiiganyiiga, okulumwa omutwe n’ebirala.
2 Mu kuggyamu amagi n’okugazzaamu omukyala ayinza okufuna yinfekisoni, okuvaamu omusaayi ogususse, okufuna obuvune ku bitundu bye ebyetoolodde nnabaana nga mw’otwalidde n’akawago. Ne mu kuzaala kiyinza okuvaako okuvaamu omusaayi omungi.
3 Omwana asobola okugaana okwetonda, naye ng’omubiri gugutaddewo embeera y’ow’olubuto.
4 Ng’omukyala yenna omuzito, naye asinduukirirwa emmeeme n’okusesema.
5 Engeri gye bakussaamu amagi agawerako, abamu ku baana abatondebwa basobola okugejja, abalala ne babeera batono era nga bawewuka ekisukkiridde.
6 Osobola okuzaala n’omwana ng’aliko obulemu oluusi nga yagejja omutwe oba nnakimu, n’ebirala, nga zino omwana zimujjira kubanga teyatondebwa mu ngeri eyabulijjo.
7 Agamu ku magi ge bakuzzaamu gasobola okuseeseetuka ne gagenda mu nseke.
8 Oluusi olubuto luyinza okuvaamu, oba okuluzaala nga terutuuse.
9 Kya buseere okufuna ezzadde mu nkola bw’eti era ensawo yo erina okuba nga nnywevu bulungi