HAJJI Musa Ssewava 62, omutandisi w’amasomero ga Sir Apollo Schools afudde baakamala okumulongoosa ku mutwe olw’ebisago bye yafunidde mu kabenje ku Ssande.
Mukyala we, Sarah Nabuuma Ssewava yategeezezza nti, bba yafunye akabenje ku Ssande bwe yabadde ng’avuga. Yabadde atuuka e Buloba ku lw’e Mityana n’afuna okusannyalala olwo emmotoka n’efuna akabenje kyokka teyafunye lubale lwonna era teyafulumizza musaayi.
Baamututte mu ddwaaliro lya Kampala Hospital e Kololo ne bamujjanjaba abasawo ne basalawo okumulongoosa ku Lwokusatu. Yazze engulu naye nga tannaba kuddamu kutegeera bantu. Embeera yatabuse era yafiiridde mu ddwaaliro nga bukya ku Lwokuna.
Ffamire n’olukiiko olufuzi olukulembera amasomero lwafulumizza ekirango nti, “Olukiiko olufuzi n’abayima wamu n’olukiiko olukulembera amasomero ga Sir Apollo Kaggwa ne City Parents’ Schools babika Dayirekita Hajji Musa Ssewava. Wwa kuziika e Buloba ku lw’e Mityana.”
Essomero lya Sir Apollo Kaggwa e Kisaasi.
AMASOMERO G’ABADDE ALINA
Hajji Musa Ssewava ye nnannyini masomero ga Sir Apollo Schools okuli: Sir Apollo Kaggwa Mengo, Sir Apollo Kagwa Primary School Nakasero, Sir Apollo Kagwa Primary School Kawempe ne Sir Apollo Kaggwa Boarding Primary School Old Kampala ku luguudo lwa Sir Apollo era weewabadde ofiisi ze.
Sir Apollo Kagwa Primary School Kisaasi, Sir Apollo Kagwa Primary e Kitintale, Amalala kuliko; Kyengera Parents School Mugongo ne Kyengera Parents Primary School (Day & Boarding).
Omwaka oguwedde yagula essomero lya City Parents okuliraana ekitebe kya Munisipaali y’e Lubaga
Sir Apollo Kaggwa Primary School - Kisaasi yagula awaali Manchester High School n’ateekawo eryo. Winston Day and Boarding Primary e Kawempe gali amasomero abiri Fairway Schools e Kireka.