Abali b’enguzi ab’amaanyi mu ggwanga bakyagenda mu maaso n’okwepena omukono omuwanvu ogw’amateeka, nga buli abalwanyisa enguzi lwe batega ekitimba, kikwasa abali b’enguzi abatono, Bannayuganda be baakazaako ‘bumukene’, olwo ebyennyanja
ebinene ne biyinaayina.
Embeera eno ezibuwazizza okumalawo obulyake mu ggwanga, olw’ababbi abakulu okwepena eddobo ly’abakwasisa amateeka, ekibawa omwagaanya okusigala nga bayiiya engeri y’okubbamu ssente buli mwaka, olw’obukodyo bwe bakozesa mu kunyaga.
Ssente ezibbibwa, ze zirina okukozesebwa okutuusa obuweereza ku bantu okugeza; okuzimba amalwaliro, enguudo, amasomero, emyala, obutale n’ebirala, nga ziba zikung’aanyiziddwa mu Bannayuganda, okuyita mu misolo.
Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya, Transparency Internantional, Uganda ekola bubi mu kulwanyisa obuli bw’enguzi ng’ekwata ekifo kya 141 ku mawanga 180, era enguzi ekyafung’amye mu bitongole bya avumenti ebivunaanyizibwa okuweereza abantu.
Okusinziira ku kunoonyereza kwa ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti, Uganda buli mwaka efiirwa ssente eziri mu buwumbi 10,000 okuyita mu bulabbayi, obukenuzi,
obubbi n’obulyake.
Wadde nga Gavumenti etaddemu amaanyi okulwanyisa enguzi, ababbi abanene bakyali
kizibu kinene olw’amagezi ge bakozesa nga babba ne bataleka mukululo w’osobola kubakwatira, ate nga kkooti zikolera ku bujulizi.
LWAKI ABABBI ABANENE BASIMATTUKA EDDOBO?
Akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanyisa enguzi ekya, Anti-Corruption Coalition Uganda, Marlon Agaba, agamba nti ababbi abanene basensedde ebifo ebikola okusalawo mu ggwanga. Embeera eno ezibuwazza okubalwanyisa kuba be bandibadde
abasaale mu kaweefube ono, kyokka ate be beenyigira mu bulyake.
Okumanya embeera eno nzibu, Agaba agamba nti omuntu bw’avaayo okulwanyisa ababbi, abeera ng’alwanyisa Gavumenti, olw’amaanyi abali b’enguzi ge balinamu bifo ebisalawo.

Evans Mutesasira Kaganizo, ssentebe wa Uganda Liberal Teacher’s Union Members SACCO ne Hassan Esiingwa Maganda, nnannyini Hansem Technical Services Limited, baakwatibwa mu March omwaka guno.
Ayongerako nti waaliwo ekyaleetebwa, nga kyagala ab’oluganda lw’omukozi wa Gavumenti omuli; abakyala n’abaana nabo balangirire ebyobugagga byabwe eri Kaliisoliiso wa Gavumenti, kyokka tekyayitamu, kuba abandikiyisizza ate bwe banyagulula ebyobugagga, babissa mu mannya g’abaana baabwe okulemesa
ababanoonyerezaako.
Olw’okuba ababbi abanene baba ne ssente nnyingi ze bafuna mu bulyake, kibanguyira okugulirira poliisi enoonyereza ku buzzi bw’emisango n’ereka ebbali obujulizi obubaluma okukkakkana nga kkooti zibejjeerezza.
Agaba agamba nti eno y’ensonga lwaki obubbi obubadde mu ggwanga ne buwuniikiriza, okugeza ababba eza CHOGM, abaagula ennyonyi enfu, ababba ezaali zirina okuzimba ddaamu n’abalala, bonna mu misango gyabwe, waabulawo abanene abaafuna ebibonerezo.
Akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirondoola ssente ez’ebyokulonda n’okulwanyisa enguzi, ekya Alliance for Finance Monitoring, Henry Muguzi agamba
nti ababbi abanene, be bannabyabufuzi ab’amaanyi omuli baminisita, bassentebe ba disitulikiti, ababaka ba Palamenti, abawandiisi b’enkalakkalira mu minisitule, bakaminsona n’abalala.
Bano kizibu okubakwata n’okubasingisa ogw’obuli bw’enguzi, ate nga be babbi aba waggulu. Kino Muguzi agamba nti kiva ku kuba ng’abakulu bano si be bakola ku
mpapula z’okubba, balagira bulagizi abakozi okugeza ababala ebitabo
olwo omukugu ali wansi n’anoonya pulojekiti kw’abba.
Aba wansi bwe balaba omukulu atutte eddene, nabo nga beegabanya ezisigaddewo, kye kiva kiba ekyangu okukwata ‘bumukene’ buno okusinga eyabusindise, kuba bwe bussa emikono ku mpapula z’omunyagoMuguzi agamba nti okumanya
ababbi abanene bayaaye, tebakkiriza kubateera ssente ezibbiddwa ku akawunti.
Ebisawo balina kubibatwalira waka, oba mu bifo ebyekusifu amatumbibudde, waleme
kubaawo abalaba.
Abamu naddala ababba ennyingi, okugeza obunyazi obwali mu Bbanka Enkulu
omwaka oguwedde, baakolagana n’ababbi abalala mu mawanga g’ebweru, gye baasindika ssente ku akawunti ez’ekifere, olwo ababbi baayo ne baziggyayo
ne balinda omubbi omunene ali wano okuzinonayo.
Bw’owulira omukungu nti yagenze bweru olowooza yagenze kuyiiyiza Bannayuganda,
kumbe anonye munyago gwe! Mu bubbi obw’ekika kino, Muguzi annyonnyola nti abanene tosobola kubalabako singa ddiiru tegenda bulungi, era poliisi bw’enoonyereza,
ekwata abali wansi olwo mukama waabwe n’alya butaala nga bw’avumirira n’obuli
bw’enguzi ku ttivvi!
Ye omulamuzi eyawummula era eyakulirako kkooti ewozesa emisango gy’obulyake, John Bosco Katutsi yagambye nti ekiyigula abanene okubba nga tebakwatibwako, kwe kuba nga waggulu waabwe waliyo ababawambaatira.
Mu bbanga lye yamala ng’akulira kkooti eno, agamba nti yalaba nga waliwo abali b’enguzi abavunaanibwa n’amaanyi gonnkyokka ate abalala nga babaweeweeta,kyokka nga bali ku misango gye gimu. Ekirala abali b’enguzi ab’amaanyi boogera ennimi nnyingi, omuli n’olwa ssente, olubayamba okuvvuunuka emisango eminene.
KALIISOLIISO KY’AGAMBAKaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Kamya yagambye nti ababbi abanene bazannya bulungi emizannyo gyabwe ne bataleka bujulizi, ekizibuwaliza ofiisi ye okubavunaana n’okubasesemya ssente ze babbye olw’obutaba na bujulizi. Enkola ey’okwekenneenya enneeyisa y’abakungu bano, (Life Style Audit) Kamya agamba nti ye yokka esobola okuyamba okubakwata kyokka ng’abantu ba bulijjo beetaaga okuba wakati mu kuloopa abakungu bano kuba ebintu eby’ebbeeyi ebitagya mu misaala gyabwe babikolera mu bantu era baba bamanyi nnannyinibyo omutuufu.
Kamya ayongerako nti okuva bwe baatandika okukunga abantu okwenyigira mu kulondoola enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti, waliwo ebintu bye basuuzizza
ababbi ng’abamu babiwaayo mu ddembe, nga tebaagala kuswazibwa, oluvannyuma lw’okubulwa obujulizi obukakasa nti baabikola mu ssente zaabwe. Okusinziira
ku lipooti ya Kaliisoliiso ey’omwaka 2022-23, ssente 14,893,969,526/-obuwumbi 14)
ze zaanunulwa okuva ku bali b’enguzi nga ku zino, 6,193,969,516/- zaasasulwa
mu mpeke, ate 8,700,000,000/- mu bintu ebikalu abakenuzi bye baagula mu ssente
z’omuwi w’omusolo.
Mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2023-24, ofiisi ya Kaliisoliiso yanunula obuwumbi 5 mu mpeke, n’ebyobugagga ebiweza obuwumbi 8, abakenuzi bye baali
baagula mu ssente enzibe.
Ekimu ku bireese obuwanguzi buno, Kamya agamba nti be bantu ba bulijjo okufuuka
bakaliisoliiso abasookerwako, abababagulizaako naddala ku byobugagga by’abakozi ba
Gavumenti bye balina, nga tebikwatagana na misaala gyabwe.
Kamya ayongerako nti okulondoola enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti eyambye nnyo, kuba wadde tewaba bujulizi bulaga nti omukungu yatadde omukono ku mpapula n’abba ssente, bwe bamusanga azimba ekizimbe eky’amaanyi ne bamubuuza gye yaggye ssente
nga tasobola kunnyonnyolayo, kibanguyira okumunyweza, era bangi bafundikidde, ebyobugagga bino babisesemye.
KIKI EKIRINA OKUKOLEBWA?Agaba agamba nti Gavumenti erina okusitukiramu yeetundulemu abantu abatambulirwako enguzi awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Amawanga agalwanyisizza enguzi okugeza Botswana, Rwanda, Mauritius n’awalala, eby’okuzibira abanene mu Gavumenti baabivaako ne basiba buli mubbi, kwe kufuna ku
kalembereza nga Uganda ky’erina okukola.
Abalonzi nabo yagambye nti bateekwa okulaga amaanyi gaabwe nga bayita mu kalulu, baleme kulonda abo abasongeddwaamu ennwe mu mivuyo gy’okubba ssente zaabwe. Buli lwe balonda abantu ab’ekika kino, kibongera amaanyi okubba.
Ye Muguzi agamba nti ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti erina okuweebwa amaanyi erondoole enneeyisa y’abakozi ba Gavumenti (Lifestyle Audit), nga lino ly’ekkubo lyokka ery’okukwatamu ababbi abanene, kuba bw’obateegera mu ofiisi, tosobola kubafuna.
Engaba y’emirimu gya Gavumenti n’ebifo ebyobufuzi nayo etunulwemu, biweebwenga abantu ab’ensa, abatajja kwegaggawaza.
Gavumenti erina okussa ssente eziwera mu kusomesa abantu ku bulabe bw’enguzi, ekiseera kituuke ng’enguzi abantu ba bulijjo ebawunyira ziizi, bo basobola bulungi okwesamba ababbi abo n’okubakolokota bazzeeyo ebibbe.
Ekiseera kirina okutuuka ng’omubbi bw’ajja ku mukolo abantu bamumma akatebe w’atuula, nga bwe kiri mu mawanga g’abazungu. Poliisi n’ebitongole ebirwanyisa
enguzi, Gavumenti erina okubiwa ssente ezimala okusobola okugula tekinologiya ow’omulembe n’okukozesa abakugu obusingayo, kuba ababbi buli olukya bayiiya tekinologiya w’okubba

ENGERI ABABBI ABANENE GYE BATIISATIISA ABAGEZAAKO OKUBALONKOMA MU BULI BW'ENGUZI
Ebitongole bya Gavumenti ebirwanyisa enguzi, byesigama nnyo ku bafuuyi ba ffirimbi, abalonkoma obubbi bwa ssente z’omuwi w’omusolo, obugenda maaso mu
bitongole eby’enjawulo.
l Abantu bano bakuumibwa etteeka erya Whistleblowers Protection Act 2010, era bayambyeko okulonkoma obulyake mu bitongole nga NSSF, UNBS (ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu), minisitule ya ssaayansi ne tekinologiya ku ssente ezaali ez’okukola eddagala erigema Covid 19 n’ebitongole ebirala.
l Wabula okusinziira ku Kaliisoliiso wa gavumenti, Beti Kamya, abafuuyi ba firimbi olumu batya okwogera, kuba ababbi abanene mu bitongole byabwe babassaako akazito
ak’amaanyi nga babategedde nti be baatambuza olugambo.
l Obumu ku bukodyo bwe bakozesa, Kamya agamba nti kwe ujingirira ebisangosango ku muntu gwe bateebereza okubalonkoma, ne bamubuzaako obwekyusizo, ne babawummuza ku mirimu, n’ekigendererwa eky’okukanga abalala baleme kubaloopa, oba okubawaako obujulizi ng’emisango gituuse mu kkooti. l Embeera eno Kamya agamba nti evuddeko abakozi mu bitongole okutya okufiirwa emirimu n’okutulugunyizibwa, ne basirikira obubbi obuba bugenda mu maaso.
l Wabula yabakubirizza obutatya beeyongere okuloopa abanene bano, kuba bafiirwa nnyo nga tebabaloopye, okusinga nga babaloopye.
Yawadde ekyokulabirako, nti bwe bakanyuga ekitimba, kikwata bano aba wansi abaasirika ne bagaana okwogera ng’omunene abalagira okumubbira ssente era ne kibaviirako okubonaabona ng’omunene alya butaala.
l Mu ngeri yeemu, yabagumizza nti ofiisi ye esobolera ddala okubataasa singa baba batulugunyizibwa olw’okuloopa abanene, era asobola okubataasa ku mbeera eno, n’abasaba baleme kutya kuloopa.