Amawulire

Endagaano egambibwa okkolebwa wakati wa Walukagga ne Magoola ebizadde

HAJJI Abdul Kiyimba eyakwata ekyokubiri mu kalulu k’omubaka wa Busiro East agenda mu kkooti okuwaabira Emmanuel Matovu Magoola eyawangula ekifo kino, olw’endagaano egambibwa nti yagikola ne Walukagga ng’amusuubiza okumuwa ssente singa amuwagira n’ayitamu.   

Walukagga ng’ayanjula Magoola eri Bannabusiro ng’abakunga okumulonda. Wakati ye Joel Ssenyonyi, akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

HAJJI Abdul Kiyimba eyakwata ekyokubiri mu kalulu k’omubaka wa Busiro East agenda mu kkooti okuwaabira Emmanuel Matovu Magoola eyawangula ekifo kino, olw’endagaano egambibwa nti yagikola ne Walukagga ng’amusuubiza okumuwa ssente singa amuwagira n’ayitamu.
Kati Kiyimba ayagala kkooti emulangirire nti ye mubaka wa Busiro East kubanga ye yakwata ekyokubiri, ate ng’eyabasinga yamenya amateeka ng’agulirira Walukagga, ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka g’ebyokulonda.
Endagaano eno etambula ku mutimbagano, egamba nti Walukagga ajja kuwa Magoola obuwagizi bwonna, na buli ekyetaagisa kyonna mu kalulu, okulaba nga awangula. Bw’anaamala okuwangula, Magoola ajja kuwa Walukagga 320,000,000/-, olw’obuwagizi bw’anaaba amuwadde ne bumutuusa ku buwanguzi.

Ssente zino okusinziira ku ndagaano, Magoola alina kuzisasula obutasukka mwezi gwa munaana omwaka guno, singa abeera awangudde akalulu n’alayizibwa ng’omubaka wa Palamenti.
Kinajjukirwa nti Walukagga okutuuka okuwagira Magoola, kyava ku kakiiko k’ebyokulonda okuteeka empapula ze ez’obuyigirize ku minzaani nga mpewufu nnyo bw’ogeraageranya ku buzito bw’ekifo kye yali asaba.
Walukagga ye yali akwatidde ekibiina kya National Unity Platform bendera mu kalulu kano, oluvannyuma lw’okumegga Magoola ne Medard Lubega Sseggona, mu kasengejja k’ekibiina.
Walukagga bwe kyamala okukakasibwa ne kkooti nti obuyigirize bwe bwa lusuluuju, yadda emabega wa Magoola n’agamba abawagizi be abandimulonze nti balonde Magoola, kubanga y’alinamu embala y’ekibiina kya NUP.
EBY’ENDAGAANO BIVAAYO
Endagaano eno egambibwa nti yakolebwa Walukagga ne Magoola bwe yavaayo n’esaasaanira emitimbagano, ng’eriko n’emikono egigambibwa okuba nti gyabwe, abantu ab’enjawulo baavuddeyo ne balaga nti kino kye baakola bwali bumenyi bwa mateeka.
Wiiki ewedde, Walukagga naye yavuddeyo n’akakasa nti ddala bakkiriziganya ne Magoola bakwatagane amusabire akalulu, era Walukagga n’awa Magoola amasannyalaze ge n’awangula akalulu.
Olw’ebyo bye yamukolera, Walukagga agamba nti Magoola alina okumusasula era baakikkaanyaako. Kino Walukagga agamba nti takirabamu buzibu kubanga bulijjo abantu baakubira kampeyini ng’omuyimbi bamusasula.

Medard Lubega Sseggona

Medard Lubega Sseggona


SSEGGONA BY’AGAMBA
Okusinziira ku mubaka Medard Sseggona omu ku beesimbawo ne Magoola, Walukagga takimanyi nti bye yayogedde yabadde yeewaako bujulizi ku musango oguyinza okuggyisa Magoola mu Palamenti.
Sseggona yeewuunya abasajja abakulu bano okukola endagaano efaanana bweti, eyayongedde n’okulaga nti Walukagga teyasoma kubanga mu ndagaano mulimu akanyomero akagamba nti Walukagga ebiri mu ndagaano baabimukyisirizza mu Luganda asobole okubitegeera obulungi.
Sseggona era yagambye nti guno musango gwa maanyi nnyo kubanga gugwa mu kiti kya kugulirira, ekitakkirizibwa mu mateeka g’ebyokulonda.

Kiyimba

Kiyimba


KIYIMBA AGENDA MU KKOOTI
Hajji Kiyimba bino olwamugudde mu matu, n’atandika okubaga pulaani y’okutwala omusango mu kkooti asikambuleyo Magoola.
Kiyimba yagambye nti ali mu kukung’aanya bujulizi nga yeesigama ku ndagaano eno, era Magoola olunaamala okufulumya erinnya lye mu kyapa kya gavumenti ng’agenda amuggulako omusango, ate agenda kusaba kkooti erangiriremu ye eyakwata ekyokubiri, ayingire butereevu mu palamenti nga tebazzeemu kalulu.
MAGOOLA AYANUKUDDE
Magoola yasinzidde mu maka ge agookubiri e Jjanyi - Bwerenga ku luguudo lw’eNtebe n’awakanya ebya Hajji Kiyimba ayagala okumutwala mu kkooti ng’amuvunaana okugulirira abalonzi.
Magoola yabadde asisinkanye bakkansala ne bassentebe b’ekibiina kya NUP okuva mu magombolola 4 agokola konsitityuwensi ya Busiro East nga kuno kuliko; Kyengera Town council,Wakiso mumyuka, Mmende ne Wakiso Town Council okubeebazza olw’okumuwagira.
Yagambye nti talina busobozi bugulira balonzi ba Busiro East emitwalo 9 nti noolwekyo Kiyimba by’agamba si bituufu 

Bannamateeka bannyonnyodde ku ndagaano  

MUNNAMATEEKA Peter Walubiri owa Kwesigabo, Bamwine & Walubiri Advocates yagambye nti omuntu alumiriza nti akalulu kaalimu okugulirira abalonzi, alina okubeera n’obujulizi obujjuvu kwe yeesigama.
Ayongerako nti olw’okuba akalulu kabeera ka kyama tewali ngeri yonna omuntu omu gy’ayinza okuguza omulala abawagizi be era omuntu tayinza kwesigama ku nsonga eyo mu mateeka kusaba kkooti kusazaamu kulondebwa kwa munne.
Walubiri yagambye nti bulijjo abeesimbyewo bakola ebisuubizo eby’enjawulo eri abalonzi okugeza ensimbi za PDM, amasannyalaze, enguudo n’ebirala nga mu mateeka bino tebibalibwa nga kugulira balonzi.
Agamba nti endagaano ya Walukagga ne Magoola tannagirabako kyokka singa tewabeerawo bujulizi bulaga nti Magoola alina ssente ze yawa Walukagga okumulonda kizibu amateeka okugyesigamako, era Magoola ne bw’asasula Walukagga mu kiseera kino tewali tteeka lya byakulonda ly’aba amenye.
Ye Munnamatteeka Robert Ssenfuka okuva mu SK & Partners yagambye nti mu mateeka g’ebyokulonda temuli tteeka libonereza munnabyabufuzi ng’asuubizza omulonzi okubaako byamukolera singa abeera ayiseemu. Era y’ensonga lwaki ekkanisa, Kleziya oba omuzikiti, tebasobola kuwaabira munnabyabufuzi yabasuubiza mabaati ng’ayigga akalulu, singa alemwa okugabawa ng’amaze okuyitamu. Singa wabaawo obujulizi nga Walukagga bamukwasa ssente enkalu mu kiseera kya kampeyini awo wabaawo omusango.
Wabula agamba nti endagaano eno, ne Walukagga eyinza okumukaluubirira okubanjizaako Magoola, singa agaana okumusasula kubanga endagaano ezifaanana bweziti si nnyangu za kuteeka mu nkola.
ETTEEKA KYE LIGAMBA
Etteeka erirung’amya okulonda ababaka ba Palamenti erya Parliamentary Elections (Amendment) Act, 2020, akawayiro ak’e 68 akatundu akasooka, ligamba nti; omuntu yenna ng’okulonda tekunnaba, oba nga kugenda mu maaso, n’ekigenderwa eky’okusikiriza omuntu omulala okulonda, oba okwesonyiwa okulonda omuntu yenna abeera yeesimbyewo, awaayo oba n’aleetera okuwaayo ssente, ekirabo oba ekintu kyonna eri omulonzi oyo, abeera azzizza omusango gw’okugulirira era bwe gumusinga asasula engasi etasukka 1,440,000/- oba okusibwa emyaka egitasukka esatu oba byombi.

Tags: