Abavuzi ba mmotoka bannamukisa 18 baakugenda e Dubai mu mpaka ez’okusoomoozebwa okuvugira mu ddungu ezimanyiddwa nga City Tyre Desert Challenge ezigenda okubaawo mu December omwaka guno.
Bagenda kuvuganya n’abalala okuva mu nsi yonna nga kkampuni ya City Tyre yeegatiddwako eya Abu Dhabi Oil Company (ADNOC) okuva mu ggwanga eryo.
Abanaagenda baakuyitira mu kalulu akamanyiddwa nga City Tyre Desert Challenge Draw akatandika enkya (Lwakusatu) nga okukayingira omuntu avuga ekidduka akola saaviisi ku limu ku masundiro ga City Tyre mu mu ggwanga lyonna olwo n’afuna akakoonge okwesogga akalulu.
“Akalulu kaakuzannyibwanga ku buli nkomerero ya mwezi era nga ab’ebidduka ebya buyonjo bagenda kuvuganyiza mu mutendera gwabwe eera nga babiri be bajja okuwangula buli mwezi.
Aba takisi nabo baakuvuganyiza mu mutendera gwabwe era nga mu bano omuntu omu y’agenda okuwangula buli mwezi.
“Buli mwezi tujja kufuna basatu. Okutuuka mu December ng’abawanguzi baffe 18 tumaze okubafuna,” akulira obwa kitunzi mu kkampuni ya City Tyres, Herbert Bashasha bwe yategeezezza nga batongoza empaka zino ku kitebe kya kkampuni mu kibangirizi ky’amakolero Kololo.
Akulira obwa kituunzi ku kkampuni ya ADNOC, Rejish Pillai ategeezezza nti kano kakisa akalala akazze eri abantu ba Uganda era bettanire okukolera saaviisi ku City Tyres baggulewo emikisa gy’okuwangula.
“Abawanguzi baakufuna emigaso omuli okugezesa obukodyo bwe balina ate n’okyiga okuvuga mmotoka mu ddungu,” Rejish bwe yategeezezza.
Guno mulundi gwakusatu nga aba City Tyre ne kkampuni ya ADNOC bategeka akazannyo kano nga baasembye owama guwedde.