OMUGAGGA w’omu Kampala, Abdunoor Ssentamu owa kkampuni etuusa ttayiro eya Mirage Trading Company, atabuse ne mukyala we Aisha Ssentamu Mukamusinzi Nabisere, omukazi n’addukira mu Kkooti Enkulu ey’amaka e Makindye ebagattulule bagabane emmaali ebalirirwamu ssente eziri mu buwumbi.
Kyokka Ssentamu agamba nti omukyala ono yamuwa dda emmaali emusaana, kyokka ayagala kugifuula nkola ey’okwagala okukomangawo atwale emmaali nga bw’aba ayagadde.
Ssentamu ne Nabisere baagattibwa nga January 23, 2011 mu Muzikiti e Kibuli era balina abaana bataano ng’omukulu wa myaka 27 asembayo wa myaka 20. Omusango gw’okubagattulula n’okugabana emmaali guli ku fayiro nnamba 198/2021 nga Nabisere yayise mu balooya ba Praxlex Advocates.
Emmaali esinga yonna eri mu mannya ga kkampuni yaabwe eya Mirage Trading Company, Nabisere mwe yali akola ng’omu ku bagiddukanya ate era ng’omu ku badayirekita ng’alinamu emigabo 50 ku 100, okutuusa emigabo lwe gyamuggyibwako mu ngeri gy’alumiriza nti yalimu olukujjukujju.
Nabisere yawadde kkooti ensonga 11 kw’asinziira okusaba okumwawukanya ne Ssentamu omwabadde ekya Ssentamu okugaana okwegatta naye nga tamuwa nsonga lwaki amumma omukwano n’okumubadala n’amusuulawo mu nnyumba nga tabaliridde emyaka 29 gye babadde bombi nga tamujuza.
Kino Ssentamu ekiwakanya bw’azzeemu nti, ekituufu mukyala we yali akyamwagala kyokka n’afuna ekirwadde ekyali kitamusobozesa kwegatta nti era ne ssente ezaamujjanjaba ne batuuka n’okumuggyamu nnabaana, ye yazisasula mu ddwaaliro ng’ayagala mukayalwe atereere.
Nabisere alumiriza nti Ssentamu yamudyekadyeka nga yeeyambisa eky’okubeera nti teyasoma n’amukaka okuteeka omukono ku mpapula za kkampuni ng’awaayo emigabo gye gyonna gy’alina mu kkampuni.
Agamba nti kino bwe yamala okukikola, yaggalawo ofiisi ye ku kkampuni, ebyalimu byonna n’abittika mu mmotoka n’abimusuulira awaka era okuva olwo nga January 2021 teyaddamu kumusasula musaala ogwa 1,500,000/- buli mwezi ne 224,000/- ez’amafuta ga buli wiiki nga kino yakikola kwongera kumunyigiriza.
Nabisere alumiriza nti okuva 2019, Ssentamu teyaddamu kumugulira mmere n’ebirala eby’okukozesa awaka nga kino akikola amukkakkanye agondere ebiragiro bye.
Wabula ne ku kino, Ssentamu eyeewozezzaako ng’ayita mu kkampuni ya bannamateeka ba Spring Advocates, gamba nti abadde amuwa ssente z’emmere ng’asasula abakuumi n’eby’awaka ebirala byonna nga bimalawo ssente 1,200,000/- buli mwezi era n’omusaala gwe, yasigala agufuna nga guyitira mu bbanka ya KCB okutuusa lwe yawaayo emigabo gye era Ssentamu abadde alabirira abaana mu buli kimu kye beetaaga.
OBUJULIZI BWA BBA OBULALA
Ssentamu agamba nti mu musango gw’okubagattulula Nabiseere gwe yasooka okuggulawo, bakkiriziganya amuwe amaka g’e Kirinnya agabalirirwamu ssente obuwumbi bubiri, Ennyumba eziri awamu nnya nga buli emu ya bisenge bisatu, e Kirinnya nga zibalirirwamu ssente obukadde 400.
Ennyumba Nabisere Mw’asula Esangibwa E Kirinnya Bweyogerere.
Ennyumba 12 e Kirinnya nga zibalirirwamu ssente akawumbi kamu n’obukadde 400 ne konteyina za ttayiro ssatu z’amaze okusasulira omusolo ebibalirirwamu ssente obukadde 148 asobole okwekozesa era ebintu bino yabifuna naye kati anoonya w’asobola okwongera okumunyigiriza n’okumumalako emirembe nga amuggulako emisango gy’okumukumu.
Kino Nabisere yakiwakanyizza n’agamba nti ebintu bino kkampuni ye yabimuwa ng’emuliyirira omusango omulala gwe yali agigguddeko mu Kkooti Enkulu ey’emisango gy’engassi olw’okumugoba ku mulimu mu bukyamu era omusango gw’okubagattulula ogwasooka, yagguggalawo nga Ssentamu tannaba na kwewozaako yadde okubaako ebyobugagga bye bakkanya atwale.
Nabisere era agamba nti Ssentamu abadde amuvumira mu maaso g’abakozi ku mulimu era lumu yatuuka n’okuwogganira mu lujjudde nti, nkugobye genda weenoonye.
Agamba nti nga tannagenda mu kkooti, yasooka kutuukirira bahhanda ne batuula ne bigaana kwe kugenda mu kkooti y’Obusiramu e Kibuli era Ssentamu n’akkiriza nti agenda kubaako ebintu by’amuwa baawukane kyokka n’agaana okussa omukono ku biwandiiko by’okugabanirako emmaali kwe kusalawo okuggulawo omusango mu kkooti.
Nabisere agamba nti yasoooka n’aloopa omusango gw’okubagattulula ogwali ku fayiro nnamba 47/2021 n’aguggyayo nga Ssentamu yeeyamye okukomawo awaka addemu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ky’ataakola kwe kuddayo mu kkooti n’aggulawo omulala oguliyo ku fayiro 198/2021.
EBYOBUGAGGA BY’AYAGALA BAGABANE
KKOOTI KYE YASALAWO KU BINTU
Kkooti Ejulirwamu yaakamala okusala nti, si kya tteeka nti abafumbo bwe baba baawukana ebyobugagga bye balina babigabanira wakati wadde mulina abaana.
Kkooti yalagira nti omusajja oba omukazi okufuna omugabo omunene ateekwa okulaga amaanyi ge yateekamu mu bizinensi oba ekyobugagga ky’akaayanira okugeza alina okuba n’obukakafu nti, bizinensi okukulaakulana y’abadde agiddukanya, okuteekamu ssente naye kino bwe kitabaawo kkooti esinziira ku buyambi bw’obadde owa omusajja okugeza okumufumbira, okumulabirira n’omukwano gw’obadde omuwa ne bibalirirwamu ssente ezibigyamu.
Ku ttaka kkooti yasala nti olina okulaga amaanyi go we gaali mu kuligula oba okulikulaakulanya so si kulisaba lwa kuba obadde wa mpeta.
Ennyumba Nabisere mw’asula esangibwa e Kirinnya - Bweyogerere.