SSEZZIRA muddo ogutera okumera mu luggya kyokka bangi bagutema olw’obutamanya migaso gigufumbekeddemu.
Henry Lubulwa, ajjanjabisa eddagala ly’obutonde agamba nti, amaze ebbanga ng’akozesa ssezzira mu bujjanjabi obw’enjawulo omuli:
1. Okuyamba mu kuwagala obwongo eri abakulu n’abato. Agamba nti, bw’omukozesa totera kwerabiralabira era obwongo bukwata mangu.
2. Ate ggwe atawaanyizibwa puleesa mwekwate kuba akkakkanya puleesa eya wansi n’eya waggulu.
3. Ayambako okuziyiza endwadde zonna omuli ne kookolo.
4. Atereeza olususu olufuukuuse n’okwongera amazzi mu mubiri.
5. Ayambako okuleeta essanyu ly’amaka.
ENKOZESA YA SSEZZIRA
l Osobola okumusalaasala n’omugatta mu nva endiirwa nga doodo, ejjobyo, nnakati n’ebirala n’ofumba kyokka nga tosiise wabula ossaamu birungo nga ennyaanya n’obutungulu.
l Osobola okumutokosa n’onywa amazzi.
l Osobola okukamulamu omubisi era n’onywa byonna bikola kye kimu