NAYE mmwe, ffe abamu gye tukaabira obwavu abantu balina ssente ate tebatya kuzisaasaanya. Nafunye kasitoma nga mmutwala Ntinda nga kirabika balinayo akabaga. Naye omanyi okutuukayo chali n’ahhamba mpaakinge nange nfune kye nnywa!
Wabula okunoonya we nteeka ppiki yange nga siribawo kuba ekifo kyabadde kijjudde mmotoka ez’ebbeeyi nga ntya okuziyingizaamu ka ppiki kange. Chali gwe navuze kwe kunfunira we ngissa, n’ayita omuserikale eyabaddewo nti nayo agikuumireko amaaso.
Twayingidde ekifo kabulaaza n’ahhamba sibaako kye ntya, nnywe buli kye njagala ko nze ne mmugamba nti sirina ssente ggaayi kwe kunziramu nti bbiiru eri ku ye.
Yagenze mu banne nebanywa nga buli mwenge gwa bbeeyi guli wali nga bwe bayiwa omusimbi. Nange nasinzidde ne nnywa, kuba munnange nabadde ku bya bwereere naye obuzibu bwabadde mu kudda waka, nga nzenna ngangayidde nga n’embwa ngiyita hhwa. Nasituse nga n’okugulu tekuva mu kifo ate nga nnina okusamba ppiki, nzire ewange. Omugagga gwe naleese, yabadde n’ab’ekinywi kye, abaamuzzizzaayo mu mmotoka.