Abadde yeeyita Captain n’afera abantu aleeteddwa mu kkooti

OMUVUBUKA abadde yeeyita Captain w’amagye n’afera abantu ng’abalimba nti wa CMI akwatiddwa.

Kamwesiga eyavunaaniddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUVUBUKA abadde yeeyita Captain w’amagye n’afera abantu ng’abalimba nti wa CMI akwatiddwa.

James Kamwesiga 37, nga mutuuze w’e Ndejje-Kanaba mu Ggombolola y’e Makindye Ssabagabo yasimbiddwa mu kkooti ku Buganda Road n’avunaanibwa omusango gw’okubba obukadde 9 ku musuubuzi Jackie Komujuni bwe yali amusuubizza okumukwatira omusajja eyamunyagako obukadde 200.

Omulamuzi w’eddaala eryokubiri Winnie Jatiko Nankya yasomedde Kamwesiga omusango ku fayiro nnamba Sd ref 92/16/06/2025, kyokka ono yagwegaanye era n’asindikibwa ku alimanda e Luzira nga waakudda mu kkooti nga August 12, omwaka guno