Abatta n’okubbisa emmundu bazziddwa gye baakola obulumbaganyi

POLIISI n’abebyokwerinda abalala okuli Flying Squad ne Crime Intelligency batutte abavubuka okuli Alex Lule (Ddodo) ne munne Bruno Jjuuko (Afande) abaakwatiddwa ku butemu n’obunyazi bw’emmundu gye buvuddeko ne babalaga obukodyo n’engeri gye babadde baluka ddiiru okunyagulula abasuubuzi naddala ab’ebyuma by’emmwaanyinga bakozesa emmundu.

Abakwate nga batuusiddwa e Kyotera gye baakola obulumbaganyi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI n’abebyokwerinda abalala okuli Flying Squad ne Crime Intelligency batutte abavubuka okuli Alex Lule (Ddodo) ne munne Bruno Jjuuko (Afande) abaakwatiddwa ku butemu n’obunyazi bw’emmundu gye buvuddeko ne babalaga obukodyo n’engeri gye babadde baluka ddiiru okunyagulula abasuubuzi naddala ab’ebyuma by’emmwaanyi
nga bakozesa emmundu.
Bano baakulembeddemu ab’ebyokwerinda ne babasoosa ku kyalo Biikira-Buyambi okumpi ne Kyotera mu kibira kya kalittuns ekinene mwe babadde bassa kkava nga beekumye okumala akabanga nga baluka ddiiru okunyaga.
Baategeezezza nti, mu kibira kino baasulangamu enfunda eziwera olwo munnaabwe Lawrence Ssenyomo (Machete) nga ye akola gwa kulawuna n’okuziga ddiiru eri abo
be baalina okukolako obulumbaganyi okunyaga ssente.
Baategezezza nti, mu kibira kino   munnaabwe Machete era ye yakolanga ogw’okubaleetera emmere n’ebyokulya ebirala olwo nga ye akola ogw’okuguumiika ku bbankaya Centenary e Kyotera okulaba abafuluma n’ebisawo bya ssente n’abagoberera okutuuka we baba bagenda, olwo n’addayo mu kibira n’abasomera.

Mu kibira kino baalukirawo misoni nnya okuli; okuteega omugagga John Ddamulira ow’e Kaliisizo gwe baakuba amasasi ku kyalo Kigenya ku luguudo oluva e Kyotera okudda e Kaliisizo ne banyaga ensimbi eziri mu bukadde 70, okulumba omugagga John Mukalazi owa Mulunda Bisolo Coffee Factory e Nsambya -Kaliisizo gwe baanyaga obukadde 40, omugagga Geoffrey Ssuuna gwe baanyagako obukadde 40 nga yaakava mu bbanka ya Centenary e Kyotera kw’ossa okunyaga obukadde 40 ku musuubuzi Ronald Lubega nnannyini kyuma kya Mazima Bugagga Coffee Factory e Kifuuta mu ggombolola y’e
Kabira.
Ssente zino yali azitumye maneja we Andrew Kaggwa era okuva mu bbanka ya Centenary e Kyotera ng’ono olwatuuka ku kyuma ne bamusongamu emmundu ne
bamuggyako ekisawo omwali ensimbi. 
Bano yonna ku byuma gye banyaga ensimbi zino baatwaliddwaayo abeebyokwerinda nga balku njegere bakuumwa butiribiri era ne bannyonnyola engeri gye bakolamu misoni nga buli we baali babba baavuganga pikipiki yaabwe olwo ne basibira mu Kikajjo e Kampala gye baagabaniranga omunyago. Era baakulembeddemu abeebyokwerinda ne babatwala ku maka g’omugagga Polinaali Ssemanda ku kyalo Kaswa mu ggombolola y’e Lwankoni ng’ono ye nnannyini kyuma kya Zavuga Coffee Factory ne balaga engeri gye baamutaayiza nga yaakatuuka ne ssente zino mu makaage ne bamuteeka ku mudumu gw’emmundu ne bamunyagako obukadde 150 nga ku  mulundi guno baali ne munnaabwe omulala Ronald Mwanje (Kigere) eyasooka okukwatibwa era ne bazigabanira mu ssabo ku kyalo Kalagala mu Kaliisizo Town Council.
Oluvannyuma baatutte abeebyokwerinda ku kyalo Kazigo okumpi ne Kyanamukaaka e Masaka polisii we yabataayiriza n’ebakubamu amasasi ne basuula pikipiki ne beesogga
ensiko olwo ne basuula emmundu zino ebbiri ze bagamba nti, baazibba ku baserikale ba poliisi abaali bakuuma omukungu wa poliisi omu e Katale-Sseguku. Mu kanyoolagano akaaliwo ku kyalo kino, amasasi gaakwata munnaabwe Lawrence Ssenyomo era n’attibwa olwo bano ne badduka n’ekisawo kya ssente kye baali bava okubba e Kifuuta.
Baategezeeza nti, baayita mu lusaalu ne badduka ne beeyambula engoye ze baalimu n’ebijaketi ne basigala mu ngoye endala era bwe abbulukula ku kkubo baafuna
owa Bodaboda gwe batamanyi n’abavuga olugendo lwa kkiromita
nga 10 ng’ono okumwebaza  baamuwa emitwalo 10. Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye yategeezezza nti, bano okubazza mu bitundu bye baakolamu
obulumbaganyi bwe bumu ku bujulizi bwe baliko okwongera
okunoonyereza ku musaango ogwabaggulwako ogw’obubbi nga bakozesa emmundu era okunoonyereza bwe kunaggwa baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.