ROBERT Kyagulanyi Ssentamu 'Bobi Wine' awaddeyo empapula ze ezisaba ekibiina kya NUP ky'akulira okumuwa kaadi okuddamu okwesimbawo ku Bwapulezidenti bwa Uganda. Bobi ng'ali n'owuwe Barbie Itungo Kyagulanyi n'omu ku baana be Shadrak Mbogo, baatuuse ku kitebe kya NUP e Makerere - Kavule ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo mu kimpoowooze ne bagenda butereevu mu weema omwabadde ab’akakiiko k'ebyokulonda mu NUP abakulirwa Harriet Chemutai.
Abalala abaawerekedde Bobibe bamaama b’abasibe okuli owa Eddy Mutwe ali mu kkomera e Masaka, Yasin Ssekitooleko amanyiddwa nga Machete ali e
Kitalya, mukyala wa Ddamuliraeyabula emyaka mukaaga emabega n'abenganda z’abasibe abalala.
Mu kwogera kwe, Bobi yategeezezza nti yasazeewo okutambula n'abeng’anda z'abasibe kuba gwe mulamwa omutuufu ogumukomezzaawo okuvuganya kuba eggwanga lyetaaga okununula nga ssinga abivaamu, ajja kuba ng'alidde mu Bannayuganda
olukwe. Yayongeddeko nti yeebuuza ekimala nga tannaleeta kusaba kwe era
yakirabye nga kya magezi okuddamu okawetaba mu lwokaano luno omulundi
ogwokubiri era n'asaba abakulu mu kakiiko k'ebyokulonda okumwesiga.
Yategeezezza nti wadde akimanyi akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga kayinza obutaba na busobozi butegeka kalulu mu mazima na bwenkanya, Bannayuganda basobola okukakozesa okwekyusiza Gavumenti. Chemitai yakkirizza empapula za
Bobi n'amutegeeza nti bakyalinda abalala okuleeta okusaba kwabwe ku kifo kye kimu wadde nga basigazza olunaku lumu