EKLEZIA mu ssaza ekkulu erya Kampala etangozza ekitabo ky'obubaka obukungubagira Paapa Francis ne saba abakristu okumusabira.
Kino kitongozeddwa Cansala w'Essaza ekkulu erya Kampala Rev.Fr.Dr.Pius Male Ssentumbe ku wankaki wa Lutikko e Lubaga ng’ono agasseko okwanjula enteekateeka z'okungubagira Paapa mu Eklezia mu Uganda.
Cansala ategeezezza nti mukiseera kino abantu bonna baddembe okugenda e Lubaga okuteeka obubaka bwabwe mu kitabo kino nga ku Lwokutaano omubaka wa Paapa mu Uganda Ssaabasumba Luingi Bianco wakukulemberamu mmisa ey'okungubagira Paapa ku ssaawa mukaaga ez'omutuntu.
Mmisa eno yakwetabwamu abakristu okuva mu ssaza lyonna, ab’enzikiriza endala,abakungu ba gavumenti n’obwakabaka ne bannaddiini.
Fr.Male yagambye nti mmisa ez’okusabira omwoyo gwa Paapa zatandika dda mu bigo eby’enjawulo era nasaba ba bwannamukulu n’abakristu ababulijjo okuzitwala mu maaso.
KLEZIA TEGENDA KUSINDIKA BANTU MU KUZIIKA
Wadde abakulembeze mu mawanga ag’enjawulo gavuddeyo negalangirira abakungu bago abagenda okwetaba ku mikolo gy’okuziika Paapa ku Lwomukaaga Fr.Male agamba nti eklezia terina nteekateeka yonna yakusindika bantu mu kuziika kuno nga kino akitadde ku lw’obufunda bw’obudde obutabasobozesa kukola ku byetaagisa.
Yagambye nti Eklezia eria bannaddiini okuli abasaserdooti, n’Abaseminaliyo e Roma ssaako abakristu ababulijjo abanagikirira mu kuziika kuno.
KCCA EWADDEYO AMAZZI G’ABAKUNGUBAZI
Abakungu n'abantu babulijjo eggulo (Lwakusatu) basibye beyiiwa ku Lutikko e Lubaga okungubagira Paapa nga bano bakulembeddwa abakungu ba KCCA okwabadde agikulira Hajjat Sharifa Bizeki,Lodi mmeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago n'abalala.
Bano bayaniriziddwa bwannamukulu we Lubaga Rev.Fr.Achilles Mayanja era Buzeki yayogedde ku Paapa Francis ng’abadde omukulembeze w’abantu bonna awatali kusosola mu mawanga oba eddiini,omulwanirizi w’eddembe n’emirembe n’obutonde bw’ensi.
Hajjati Buzeki yategeezezza nti KCCA egenda kuwaayo amazzi gonna agananywebwa abakungubazi ku Lwokutaano e Lubaga.
Ye loodi mmeeya Lukwago yatendereza Paapa Francis olw’omukulo gwaleese mu kulwanirira eddembe,okwagala abannaku,obukulembeze obutambulira kunfuga eyamateeka naddala mu mawanga g’Africa