Ekibadde Entebbe ku kisaawe ng'omubiri gwa Cecilia Ogwal gutuusibwa ku butaka

OMUBIRI gw’abadde Omubaka omukyala Ow’e Dokolo - Cecilia Babra Atim Ogwal gwatuuse dda ku butaka ku kisaawe e Entebbe wakati mu maziga n’ennyiike okuva mu babaka ba palamenti n’abenganda.

Ekibadde Entebbe ku kisaawe ng'omubiri gwa Cecilia Ogwal gutuusibwa ku butaka
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Entebe #Cecilia Ogwal #Mikwano #Mubiri #Mugenzi

OMUBIRI gw’abadde Omubaka omukyala Ow’e Dokolo - Cecilia Babra Atim Ogwal gwatuuse dda ku butaka ku kisaawe e Entebbe wakati mu maziga n’ennyiike okuva mu babaka ba palamenti n’abenganda.

Sipiika n'abaserikale nga balinze okubakwasa omubiri gwa Ogwal.

Sipiika n'abaserikale nga balinze okubakwasa omubiri gwa Ogwal.

Omubiri gw’omugenzi gutuuse ku Ssaawa 9:00 ez’omu ttuntu era sipiika Anita Among, Nnampala wa gavumenti Hamson Obua , minisita w’ebyemizannyo Peter Ogwang, minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Acheng, Ssaabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafabi n’ababaka abalala kw’ossa omwami we papa  Lamech Ogwal n’abaana b’omugenzi obwedda bagulindiridde.

Minisita Acheng agambye nti omugenzi ku ludda lw’ebyobulamu abadde mukunzi nnyo era alwaniridde abantu okulaba nga bibatuusibwako. Omubaka omukyala ow’e Tororo- Sarah Opendi agambye nti Ogwal abadde ayagala nnyo okulaba nga abakyala beenyigira mu kusalawo era muntu abadde alemera ku kituufu.

Sipiika Among n'abalala ku kisaawe nga bakwasibwa omubiri gw'omugenzi. Embeera yabadde ya kiyongobero.

Sipiika Among n'abalala ku kisaawe nga bakwasibwa omubiri gw'omugenzi. Embeera yabadde ya kiyongobero.

Omubaka wa Kasiro Elijah Okupa agambye Ogwal ye muntu eyamutendeka mu byobufuzi era nga buli gwabadde akwatako abadde tasigala kyekimu.

Okupa era agambye nti Ogwal abadde mutabaganyi nga bantu bangi bazze atabaganya ababadde baafuna obutakkanya mu palamenti nga eyali sipiika Kadaga n’omumyuka we omugenzi Jacob Oulanya kw’ossa minisita Namuganza ne Kadaga.

Oluvannyuma omulambo gukwasiddwa kkampuni ya Aplus okugwongerayo e Mulago nga n’oluvannyuma gwakutwalibwa mu maka ge e Bugolobi gye gugenda okusula ate Enkya gukeezebwe ku palamenti.