ABAVUBUKA b’omu Ghetto z’e Mbale, batongozza akakiiko akagenda okunoonyeza Pulezidenti Museveni obululu mu kulonda kwa 2026.
Ssentebe w’abavubuka ba ghetto mu Bugisu, Ali Mugerwa Malimbwa yakulembeddemu banne abaayisizza ebivvulu mu kibuga Mbale n’oluvannyuma ne bakuhhaanira mu kibangirizi kya Mission Cell.
Mugerwa yagambye nti okuva Pulezidenti lwe yajja n’abalambula lwe yali e Mbale, baawulira nga kibakakatako nabo okumuwa obululu basobole okumufunamu ng’abawa ekifo we bayinza okukolera.
RCC w’e Mbale, Asumini Nasikye yagambye nti kino aba ghetto kye bakoze okubayita nga batongoza okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu, kirungi nnyo kuba bategedde eggwanga gy’aliggye. Yabasabye okukuuma emirembe nga beewala okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
Omumyuka wa RCC, Yahya Were yasuubizza okuyamba abavubuka ba ghetto basobole okwenyigira mu nteekateeka za Gavumenti ez’okwekulaakulanya nga PDM, Emyooga awamu n’okukuuma obutebenkevu.
Abavubuka baasuubizza okukola buli ekisoboka Pulezidenti awangulire waggulu okulonda kwa 2026 n’okusinga emirundi gyonna gyazze yeesimbawo