KAMPEYINI za NRM ez’awamu zibumbujja mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo wakati mu beesimbyewo okweyogerera n’okukola effujjo.
E Wakiso, abeegwanyiza ebifo by’obubaka bwa Palamenti baatongozza kampeyini ez’awamu ku ofiisi ya ssentebe wa Wakiso Town Council, Fredson Mukalazi Kasiiwukira.
Andrew Kiryowa ayagala obubaka bwa Busiro East yagambye nti munnamateeka mutendeke enzaalwa y’e Bulenga - Kikaaya akuze alaba ebizibu by’ekitundu era mwetegefu okubikolako.
Yasuubizza okutumbula embeera z’abavubuka ng’abafunira emirimu, okubafunira obwenkanya ekintu kye yagambye nti kibadde kibagobye mu kibiina kya NRM.
Yabadde amaliriza okwogera, Hajji Abdul Kiyimba bwe bavuganya naye we yatuukidde kyokka abawagizi ba Kiryowa ne basooka bamulemesa okwogera nga bafuuwa vuvuzera. Kiyimba yagambye nti wadde ekibiina kibalagira okukubira awamu kampeyini, kyokka tajja kukikola kuba embeera gye bamutaddeko ne batuuka n’okuggyako amasannyalaze ng’agenda kwogera tajja kugigumiikiriza.
“Mbadde hhenda kwogera ne bateekawo embeera eno omuli n’okuggyako amasannyalaze, entalo nze nzisobola era abo abanvuganya teri azinsinga, naye sijja kuzikola” Kiyimba bwe yayongeddeko.
Yasuubizza okufuula Busiro East ekitundu ekyegombwa kuba wadde bali mu kibuga naye obukulembeze obubi bufudde ekitundu ekyalo.
Eyaliko RDC w’e Wakiso, Rose Kirabira eyeegwanyiza ekifo ky’omubaka omukazi owa Wakiso, yategeezezza nti enkwe mu kibiina, okulonda ababaka abatakwatagana na Pulezidenti Museveni, obutasembeza bavubuka kubaagazisa kibiina n’okuteekawo entalo kye kimu ku bireetedde NRM okuwangulwa.
Ssentebe Mukalazi yasabye bannakibiina obutagezaako kuteekawo ntalo kye yagambye nti kikomekkereza kiyambye ba ludda luvuganya ng’akamyufu kawedde, kuba oluusi akalulu kagenda okuggwa nga beeyuzaayuzizza.
MMOTOKA ZOOKEDDWA E ISINGIRO
Abawagizi b’omubaka wa Isingiro South, Alex Byarugaba Bakunda bakubaganye n’aba Mari Mujuni bwe bavuganya okukakkana ng’emmotoka ne piki bbiri bazikumyeeko omuliro zibengeya. Olutalo lwabadde ku kyalo Kyempisi ekisangibwa mu muluka gwa Kyezimbire mu ggombolola y’e Kigagati.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Rwizi, Samson Kasasira yagambye nti mmotoka eyayokeddwa kika kya Toyota Harrier nnamba UBA 438X ne piki bbiri okuli; UFZ 889Q ne UGA 309L
Abantu 10 be baakwatiddwa nga bagambibwa okubeera emabega w’effujjo eryakoleddwa okuli; Collins Arimpa, Hilary Aryanyijuka, Vicent Niwagaba, Adrian Tumuhamye, Abias Mwebesa, Grace Juma, David Mpakaniye, Aron Mpakaniye, Obed Aharimpisya ne Alex Kiconco