ekakasizza okusimbawo Museveni mu kalulu ka 2026

PULEZIDENTI Museveni akakasiddwa ku bwassentebe bwa NRM mu ggwanga era nga yaagenda n’okukwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa Pulezidenti okwa 2026.

Museveni
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni akakasiddwa ku bwassentebe bwa NRM mu ggwanga era nga yaagenda n’okukwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa Pulezidenti okwa 2026. Abawagizi ba Museveni baakuhhaanye mu bungi wabweru w’amaka g’Obwapulezidenti e Nakasero ne bamuwerekera okutuuka ku kitebe ky’akakiiko ka NRM e Kyadondo Raod ku Lwomukaaga.
Abantu abalala baakwatiridde ku mabbali g’ekkubo wakati mu kukuba enduulu n’okumuwuubira nga bwe bamugamba nti; ‘Muzeeyi tova ku Main’.
Museveni yayaniriziddwa omumyuka asooka owa ssentebe wa NRM, Hajji Moses Kigongo, omumyuka owookubiri Rebecca Kadaga ne Ssaabawandiisi w’ekibiina, Richard Todwong, Sipiika wa Palamenti, Anita Among n’abalala.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda aka NRM, Dr. Tanga Odoi yakakasizza Museveni ku bwa ssentebe bwa NRM nga tavuganyiziddwa ng’erinnya lye lyaleeteddwa Moses Kigongo ne lisembebwa ssentebe wa NRM e Bukomansimbi, Shafic Mwanje ne Masitula Namatovu ow’e Kamuli.
Minisita w’ebyobulambuzi, Tom Butime ye yaleese erinnya lya Museveni okuddamu okwesimbawo ku lw’ekibiina mu 2026 n’awagirwa Smithburg Tumwebaze ow’e Ntungamo ne Mariam Faith Asiyenjo ow’e Adjuman.
Museveni olwamaze okusunsulwa ku bifo byombi nga tavuganyiziddwa, yalambise ensonga 6 z’ayagala okussaako essira mu kisanja ekiddako ekya 2026-2031 omuli;
1. Si wakukkiriza muntu yenna kuleeta butabanguko mu ggwanga era abanaagezaako okwagala okuleeta entalo n’okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka waakufaafaagana nabo.
2. Buli maka gateekeddwa okubeeramu enkulaakulana awamu n’okukyusa embeera z’abantu ba ghetto abali mu bitundu nga Kampala ebyakulaakulana.
3. Okulwanyisa ebbula ly’emirimu. Waakuyamba abantu okutondawo emirimu nga basikiriza bamusigansimbi kuba bateekawo amakampuni agawa bannansi emirimu.
4. Yasabye abakulembeze n’abantu ba bulijjo okuva mu buzibe bw’amaaso wabula bategeere obulungi obuli mu kwongera omutindo ku birime mu ggwanga.
5. Ensonga y’obutale nayo yaakuteekebwamu amaanyi naddala nga bongera okunyweza enkolagana n’amawanga amalala.
6. Waakwongera okuteeka amaanyi mu misinde eggwanga kwe likulaakulanira ng’abantu bafuna obuweereza obuli ku mutindo.
Museveni yayozaayozezza abakulembeze abapya abaalondeddwa okuviira ddala ku byalo okutuuka ku bifo ebya waggulu, wabula n’abakuutira obutatunuulira bukulembeze ng’omulimu bakimanye nti bazze kulwana kumalawo ebizibu ebisoomooza awamu n’okuleeta enkulaakulana.
Haji Moses Kigongo ne Ssaabawandiisi Todwong baayozaayozezza Museveni olw’okuyitawo ku bifo byombi nga tavuganyiziddwa.