EDDIE Mutwe bamuleese mu kkooti ng’awenyera, atintima olw’ebiwundu by’alina ku mubiri, ababadde mu kkooti omwabadde nnyina, Jane Nantumbwe, mukyala we, muwala we n’abantu abalala ne batulika ne bakaaba wakati mu kwesooza. Bwe yatuuse mu kaguli nga yeetooloddwa abaserikale b’amakolera abaabadde bamukuuma obutiribiri obutatoloka n’awanika omukono okubaako by’agamba omulamuzi.
N’eddakiika teyaweze ng’ayogera mu ddoboozi erijegemera n’atendewalirwa n’akka
wansi ng’afaanana okuba nga amagulu gamufambye.
Awo abantu be abaabadde mu kkooti ne baddamu okwoza ku mmunye naye n’abeegattako n’asikondoka nga bwe yeegayirira omulamuzi nti: “ Oweekitiibwa,
obulamu bwange buggwaawo, oba kisoboka waakiri bantemeko emikono gino naye nfa obulumi…” Olwo yabadde awaniridde omukono gwe ogwa ddyo.
Bino byabadde mu kkooti ento e Masaka mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka,
Abdallah Kayiza.
Eddie Mutwe ng’amannya ge amatuufu ye Edward Ssebuufu yabadde aleeteddwa mu kkooti oluvannyuma lwa bannamateeka be okusaba akkirizibwe okweyimirirwa
asobole okufuna obujjanjabi bwe yeetaaga.
Yatuusiddwa mu kkooti ku ssaawa 6:30 ez’emisana wakati mu bukuumi okuva eri abaserikale b’amakomera ng’atambulira ku miggo. Omuwaabi wa Gavumenti, Micheal Wakosesa yategeezezza kkooti nti, byonna ebyetaagisa mu musango guno okutandika okuwulirwa babirina era beetegefu okugenda mu maaso. Yasabye kkooti eddemu esomere Eddie Mutwe omusango era amusindike mu Kkooti Enkulu
atandike okuwoza.
Wabula balooya be nga bakulembeddwa Maglian Kazibwe ne Samuel Muyizzi baasabye kkooti obutagenda mu maaso na musango olw’embeera y’omuntu waabwe gy’alimuEddie Mutwe yategeezezza omulamuzi nti eddwaaliro ly’ekkomera e Masaka gye yasindikibwa teririna bujjanjabi bwetaagisa n’agamba nti okuva lwe yatwalibwayo bamuwa empeke 12 z’amira buli lunaku okukendeeza ku bulumi.
Wabula omulamuzi yamugaanyi okweyimirirwa n’amusindika mu Kkooti Enkulu emisango egimuvunaanibwa gitandike okuwulirwa. Yalagidde era akyusibwe aggyibwe e Masaka atwalibwe e Luzira asobole okufuna obujjanjabi. Eddie Mutwe avunaanibwa n’abakuumi ba Bobi Wine abalala okuli; Achilleo Kivumbi, Gaddafi Mugumya ne Grace Wakabi emisango ogw’okukuba n’okubba nga baagizza omwaka oguwedde bwe baali ku kyalo Manja mu ggombolola y’e Kiwangala mu disitulikiti y’e Lwengo, bwe baali mu kuziika Pascal Kivumbi