Eddagala bamalaaya lye bakozesa okuwunza abasajja

OMUWALA eyakwatiddwa ku kuttibwa kw’omugagga nnannyini ssomero e Nansana abuulidde poliisi OMUWALA eyakwatiddwa ku kuttibwa kw’omugagga nnannyini ssomero e Nansana abuulidde poliisi ebiwuniikiriza!.ebiwuniikiriza!.

Ssenyonjo (owookubiri ku kkono), Katende, Ssekajja nnannyini loogi mwe battira Kansiime ne Natukunda (ku ddyo) agambibwa okutta Kansiime mu kkooti ku Lwokutaano.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUWALA eyakwatiddwa ku kuttibwa kw’omugagga nnannyini ssomero e Nansana abuulidde poliisi ebiwuniikiriza!.
Agambye nti waliwo ebika by’eddagala ebikyali ebipya ku katale abawala bye bagula mu ‘Pharmacy’ ez’enjawulo ne balikozesa mu misoni ez’okubba bakasitooma era oluusi bwe baba nga misoni yaakutta kasitooma (omusajja) eddagala eryo lye bakozesa.
Eddagala lino abawala bamalaaya basobola okulisiiga ku mabeere oba mu mbugo omusajja naddala abatanywa mwenge oba soda n’alisanga eyo. Abasajja abanywamu bo kyangu ddala kuba malaaya alimulungira mu ka bbiya oba wayini oba kawalagi olunywa emimiro ebiri ng’agwa eri.
Omuwala Joan Natukunda amanyiddwa nga Shakira, agambibwa nti ye yasemba okubeera n’omugagga Godwin Kansiime nnannyini ssomero lya Victorious Secondary School e Nansana mu loogi ya Nansana Inn esangibwa e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso ye yabuulidde poliisi ku ddagala lino.
Kigambibwa nti nga September 2, 2023, Natukunda yasendasenda Kansiime ne bagendako mu bbaala ya Nansana Inn okwesanyusaamu. Eno Natukunda gye yateekera ebiragala mu byokunywa bya Godwin ebyamugonza ne bimutta.
Oluvanyuma omulambo gwe gwateekebwa mu mmotoka ne gusuulibwa mu bitundu bye Masuliita mu Wakiso.
Ensonda mu poliisi zigamba nti Natukunda oluvannyuma lw’okukunyizibwa, yategeeza abaserikale abakola ku fayiro nti eby’okunywa bya Kansiime byalungibwamu eddagala lya ‘Rohypnol’ erimanyiddwa ennyo mu kunafuya omubiri n’obwongo.
Eddagala lino omuntu alinywedde anafuwa mu mubiri, n’obwongo nga takyategeera biri ku nsi, lireetera omutima obutakuba bulungi musaayi, n’okukaluubirizibwa mu kussa, era litta mu bwangu singa obeera olinyweredde mu mwenge.
Kiteeberezebwa nti eddagala lino lye lyaviirako Kansiime okufa, naye nga poliisi ekyakola okunoonyereza okuzuulira ddala ekituufu. Amawulire g’okubula kwa Kansiime gaatandika okusaasaana nga September 4,2023, oluvannyuma omulambo gwe ne guzuulibwa mu nsiko e Masuliita.
ENGERI POLIISI GYE YAKWATA NATUKUNDA
Poliisi mu kunoonyereza kwayo yalondoola essimu ezaali zoogerezeganya n’omugenzi ekyabayamba okumanya ebifo omugenzi bye yalimu mu nnaku ze yabuliramu.
Poliisi yagenda yeekebejja kkamera eziri mu bifo Kansiime bya yalimu mu nnaku ezo, n’ekizuula nti nga tannagenda mu loogi ya Nansana Inn yasooka kuva ku kifo kya Hollas Café and Lounge n’ayingira Nansana Inn ku ssaawa 12:14 ez’oku makya, ng’ali ne Natukunda.
Kkamera ziraga nga Natukunda yali ayambadde yeebikkiridde omutwe ng’ataddeko n’ebigaalubindi nga si mwangu waakutegeera.
Ku ssaawa 1:18 ey’oku makya, kkamera ziraga Natukunda ng’afuluma loogi ya Nansana Inn n’afuna bodaboda ne yeeyongerayo ng’adda e Kampala. Wakati mu kkubo yeegattibwako omusajja omulala ne badda e Kampala, era kkamera ne zibalaba nga bayingira mu kizimbe kya Equatorial Mall.
OMUWALA N’ABALALA 3
BASIMBIDDWA MU KKOOTI
Abantu 4 okuli Joan Natukunda ‘Shakira’, Moses Ssenyonjo, Samuel Ssekajja ne Wilber Katende baaleeteddwa mu kkooti e Nansana nga bavunaanibwa okutta Godwin Kansiime mu bbaala ya Nansana Inn. Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Roseline Rukundo lwategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso n’asaba baweebwe olunaku lw’okudda.
Omulamuzi wa kkooti ye Nansana Irene Nambatya, yabasomedde omusango gw’obutemu n’abagaana okubaako kye boogera kuba omusango guno gwa nnaggomola oguwulirwa kkooti enkulu.
Yabasindiise ku limanda e Luzira okutuusa October 26 lwe banadda.
Okunoonyereza era kulaga nga bannannyini loogi oluvannyuma lw’okuzuula omulambo gwa Kansiime, baasalawo kugusuula mu nsiko mu kifo ky’okutegeeza poliisi. Omulambo baaguvugira mu mmotoka nnamba UAP 711B Toyota Noah ne bagutwala e Masuliita gye baagusuula.
Omulambo gwa Kansiime gwazuulibwa Baker Mawanda, akola nga difensi ku kyalo, era ensonga n’aziroopa ku poliisi y’e Gobero, eyatandika okunonyereza.
Abantu mukaaga be baakakwatibwa okusinziira ku amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire. Kuno kuliko be tulaze waggulu gattako abakozi ba Nansana Inn babirib abaategerekeseeko nga Sheila ne Sarah n’abakozi ba Hollas babiri.
Ku Lwokuna, abaffamire ya Kansiime baaweereddwa omulambo gwe ne baguziikula mu limbo e Bukasa gye gwali gwaziikibwa ne gutwalibwa e Buhweju okuziikibwa