EBY’ENGABANA y’ebintu bya Dodoviko Kiyingi ebisangibwa e Bbiina B e Butabika byongedde okwawulayawula mu baffamire abaana abamu ku baagabana ku yiika essatu (3) bwebawakanyizza engabana eyasooka nebasalawo okuddukira mu kooti ya L.C.
Abamu ku baana bano nga bakulembeddwamu Deo Kiyingi omusika w’omugenzi Dodoviko Kiyingi ne Sande Lumu Ow’omutuba mu kika kino era nga ye mwana omukulu ow’omugenzi kiyingi bekubidde endulu mu kooti y’ekyalo nga bagamba nti engabana eyasooka okukolebwa yalimu ebirumira bingi nga n’olw’ekyo basaana baddemu okugabanya ebintu bino.
Ekitundu ekisinze okubatabula ky’eky’ekiggya ekyalekebwaawo nga kiriko obugazi bwa fuuti 57 ku 62 era nga abaaloopye baagala ekitundu kino kisengulwemu abafu babazze mu kyalo e Busaabaga gyebagamba nti yo wagazi.
Bx 9
Deo Kiyingi yategeezezza nti mu kiwandiiko ekyakoleddwa nga bemulugunyiza mu kooti y’ekyalo baabadde tebawaabira bakulu ba kika era nga tebalina musango gwonna gwebabavunaana kubanga baabagabira bulungi buli omu n’afuna.
Ategezezza nti obuzibu webwavudde ettaka ly’ekiggya lyalekebwawo nga tekyayogerwako nti ekiggya kisengulwe kyokka era nga waliwo n’abaana abamu abaali batafuna ku mugabo guno.
Peter Mukasa nga mwana w’omugenzi Gorge Willison Lumu mutabini wa Blasio Kato Kiyingi gweyali yasikira ytegezezza nti ekiggya kino ekikaayanirwa tekyali kya ba ndiga wabula kyali kya ba Mamba kyokka oluvannyuma lwa Kiyingi okusika nebatandika okuziikako ab’endiga olwo nebakiwamba nekidda mu mikono gy’abendiga.
Kyokka wakati mu kuteesa wabaddewo omu ku baana b’omugenzi Kiyingi, Benah Nakiyingi eyakyankalanyizza olukiiko bweyayogedde ebigambo ebyalengezezza Muzei Livingstone Kifa (muganda w’omugenzi Kiyingi) bweyabadde anenya ku baana abemulugunyizza nga ate balina omugabo gwebafuna edda kyokka nga oluvannyuma yakakiddwa okwetondera Mzei Kifa olukiiko nelugenda mu maaso.
Abakulu mu kika ky’endiga okubadde Bosco Mugga Bbosa jajja mu kika kino ne Lotani Seggya okuva mu Mutuba gwa Ssemponye baanenyezza nnyo abaana okuddukira mu kooti y’ekyalo nga tebasoose kubategezaako nga abakulu mu kika kubanga zino ensonga zibadde za mu nnyumba nga zandisoose kubalemerera nezilyoka zitwalibwa ki L.c.
Bx 10
Seggya yategeezezza abaana nga bwewatali ayinza kutunda ttaka lya kiggya nga takimanyiiko kubanga obuyinza bwonna akyabulina n’asaba bazzukulu be bonna okusigala nga bakkakamu buli omu ajja kufuna obwenkanya.
Bosco Mugga yategeezezza nga bwebakyali mu kugabanya ebintu byonna eby’omugenzi nga bagoberera enambika y’ekilaamo kyokka n’asaba abaana okusigala nga bakkakamu kubanga abamu ensonga gyebagamba ey’okusengula ekiggya yetaaga obudde obuwerako kubnga tekikolwa lunaku lumu era kiba kirina okukolebwa mu mateeka.
Oluvannyuma lwa bino byonna Ssentebe w’ekitundu Justine Kisitu Ssenyonjo yasabye akakiiko k’ekika kaddeyo katemeteme ensonga ezibulamu era ezikyaliko okwemulugunya kubanga ekirungi n’abamu ku babadde bemulugunya ku kakikko k’ekika kwebali.
Yabasabye okusigala nga bakkakkamu n’ategeeza abazzukulu bonna ababadde bayisa mu bakulu b’ekika amaaso okukikomya kubanga bebalina okubalunngamya.