Ebyafaayo by'omugenzi Willibrold Namagembe abadde mukyala wa Robert Sebunnya

MUNNAYUGANDA  eyasooka okutikkirwa diguli esooka n’ey’okubiri mu somo ly’okubaala ebitabo afiiridde ku myaka 81, nga yakajaguza ne bba Ow’ek:  Robert Ssebunya emyaka 51, mu bufumbo obutukuvvu.            Willibrold Namagembe Kiwanuka Ssebunya 81, yafuna diguli ey’okubiri mu 1968 mu yunivasite ya St Elizabeth College Convent Station  mu New Jersey mu Amerika naddirirwa Tereza Naziri eyali mukulu wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bonna kati bagenzi.

Willibrold Namagembe kati omugenzi n'omwami we Robert Sebunnya
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

MUNNAYUGANDA  eyasooka okutikkirwa diguli esooka n’ey’okubiri mu somo ly’okubaala ebitabo afiiridde ku myaka 81, nga yakajaguza ne bba Ow’ek:  Robert Ssebunya emyaka 51, mu bufumbo obutukuvvu.            Willibrold Namagembe Kiwanuka Ssebunya 81, yafuna diguli ey’okubiri mu 1968 mu yunivasite ya St Elizabeth College Convent Station  mu New Jersey mu Amerika naddirirwa Tereza Naziri eyali mukulu wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bonna kati bagenzi.

Willibrold Namagembe nga bw'abadde afaanana

Willibrold Namagembe nga bw'abadde afaanana

Bweyakomawo mu Uganda teewali mulimu ne bamuwa amagezi agende e Makerere asome Dipuloma mu busomesa basobole okumuwa omulimu ng’obuyigirize bwe buli waggulu.

 Yali akyasoma e Makerere gavumenti ya Amerika n’ewa Uganda kompyuta  nga kipya nnyo wano. Bwe balai banoonya abakola okubaala ne bamuzuula nti gyali n’abeera omu ku bateekawo Uganda Computer Services ngeri wansi wa minisitule y’ebye nsimbi oluvannyuma ne bamuzaayo mu Amerika okusoma omwaka gumu n’ekitundu  okusoma ebya “Data Services” bweyadda yakola mu bifo eby’enjawulo okutuuka lweyatuuka ku kifo ky’okukulira Uganda Computer Services.

            Yakola Sisitiimu zonna eza gavumenti mu kiseera ekyo  mwebasasulirwa “Pay Scheme” eza UEB. NSSF,University gattako ebitongole ebirala.

Museveni lweyasisinkana Robert Sebunnya ne mukyala we

Museveni lweyasisinkana Robert Sebunnya ne mukyala we

            Ssebunya agamba nti bweyaduuka mu Uganda mu kiseera kya Amini n’agenda e Nairobi omukyala yagenda namwegattako natandiika okusomesa mu yunivasite zaayo nga Users Services Manager, oluvannyuma nafuna omulimu mu kitongole kya ‘UCP” nga kitekebwamu ssente ab’ekitongole kya UN era gyabadde okutuuka lwe yawumula.

            Ssebunya agamba nti ebbanga lya maze ne mukyala we ono Namagembe emyaka 51, mu bufumbo abadde omukyala ow’enjawulo ayagaliza abaana be era abadde akyokulabiraako gye bali nabagazisa okusoma era ku baana ekkuumi be balina omwana omu yekka gwaleese ku yunivasite nga tanatiikirwa.

            Y’omu mu batandikawo ekibiina ekibadde kiyamba ku baana abawala okulaba nga batwala essomo ly’okubaala ng’ekikulu.

            Agambye nti abadde amuwabula era okuwabula kwe akufunye mu nnyo era abadde takola kintu nga tamwebuzizzaako era byonna bye bakoze ku nsi babadde babbiri.

 Ssebunya agambye nti mukyala we okusooka okubera Chief Analyst mu Uganda, kyamuwaliriza Pulezidenti emyaka nga ettaano emabega okumuwa omuddaali emyaka ettaano emabega.

Kiwanuka Sekandi abadde mwannyina w'omugenzi nga bali mu maka ga ssebunnya e Kabusu

Kiwanuka Sekandi abadde mwannyina w'omugenzi nga bali mu maka ga ssebunnya e Kabusu

ENTEEKATEEKA Y’OKUZIIKA : Namagembe yafa ku Lwokutaano mu ddwaliro e Nsambya era enkya kulwokubiri wakusabirwa  ku Lutiiko e Lubaga ssaawa 4:00 ez’oku makya gy'anava atwalibwe mu maka gaabwe e Kabusu – Lubaga gy’anava ku Lwokuna atwalibwe e Mugongo Kyengera mu Wakiso nga wakusookawo ekitambiro ky’e misa oluvannyuma aziikibwe ku ssaawa 10:00 ezakawungezi ku butaka bwa ba Ssebunya.

Ssebunya agamba nti mukyala we yafudde obulwadde bwa mawugwe bwe yalemereddwa okussa naye nga bba alowooza nti kyava ku Corona eyabakwatako nga ffamire emabega. Agamba nti yalina n’obulwadde bw’okwerabira ssaako okutawanyizibwa obulwadde bw’ennyingo mu magulu.

Bassebunnya ne famire yaabwe

Bassebunnya ne famire yaabwe

EDWARD KIWANUKA SSEKANDI: Ayogedde ku mugenzi Namagembe abadde mwanyina gwaddako era bakulidde mu ngalo ze wabula baabadde bamwenyumirizamu nnyo. Namagembe akoledde eggwanga era n’omwana wa Uganda omuwala taggya ku mwerabira naddala abaana abakola essomo ly’okubbaala

Tujja ku musubwa nnyo nga ssenga w’abaana baffe abadde n’ebigambo ebizimba gye bali era bangi bayisse mu ngalo ze. Namagembe nkakasa agya kugenda butereevu mu ggulu kubanga abadde ayagala nnyo katonda we.

HON. MIKE SSEBALU : Agambye nti bo ng’abazaalibwa e Kyengera Mugongo bakuze begomba ffamire yaba Ssebunya bano kubanga baabadde bayivu bulungi nga bagenda ne bulaaya., Ssebunya abadde minisita w’e Mmengo , owa gavumenti ya Uganda, Gavana wa Rotary n’ebifo ebirala era nnange mmukopye nnyo omukululo gwayisseemu nga bali ne mukayala we ono kati nnange ne mpereza mu bifo ebimu kwebyo