Ebyabaddewo ng'ekizimbe kitta yinginiya

YINGINIYA abadde alambula ekizimbe e Kitebi, aseeredde n’awanuka ku kalina eyookubiri n’akubawo omutwe ku ttaka n’afiirawo.

Ying. Kaweesa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

YINGINIYA abadde alambula ekizimbe e Kitebi, aseeredde n’awanuka ku kalina eyookubiri n’akubawo omutwe ku ttaka n’afiirawo.
Enjega eno yabadde mu zooni ya Kitebi we bayita ku Star mu munisipaali y’e Lubaga
eggulo, Yinginiya Daniel Kaweesa eyakedde okulambula emirimu abazimbi be gye bakola ku kizimbe kya kalina ky’abadde azimba nga kya Hood Sebyondwa, bwe yalinnye mu bbanga!
Abazimbi baamuyoddeyodde okumutuusa mu kalwaliro ka Star Medical Center okumpi n’ekizimbe, wabula baagenze okumutuusaayo ng’afudde.
Poliisi y’e Mutundwe ne Nateete zaatuuse mu kifo ne beetegereza omugenzi we yagudde n’okwekebejja omulambo oluvannyuma ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.
Mukyala w’omugenzi, Peninah Nalugemwa yatuuse bba we yafiiridde, wakati mu maziga n’ategeeza nti babeera Mukono, era bba yakedde ne mutabani waabwe omuto ow’emyaka 13 eyatudde P7 ne bajja okulambula ekizimbe. Yagambye nti kyamukubye
wala okumutegeeza nti afudde.
Aduumira poliisi y’e Nateete, Hassan Ssekalema yategeezezza nti abantu bana okuli; Moses Kirago, Abdul Jagwe, Umar Muyanja ne Hamis Jaggwe babadde bamaneja b’ekizimbe baakwatiddwa ne baggalirwa ku poliisi e Nateete okugiyambako mu kunoonyereza. Bagguddewo omusango ku ffayiro nnamba SD;18/22/11/2023 ku poliisi y’e Mutundwe ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso