Ebola azeemu!

MINISTULE y'ebyobulamu ekakasizza okubalukawo kw'obulwadde bwa ' Ebola' mu ggwanga era ne basaba abantu okubeera abeegendereza ennyo obutakwatibwa yadde okusaasaanya obulwadde buno.

Ebola azeemu!
By Jaliat Namuwaya
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ebola #Bulamu

MINISTULE y'ebyobulamu ekakasizza okubalukawo kw'obulwadde bwa ' Ebola' mu ggwanga era ne basaba abantu okubeera abeegendereza ennyo obutakwatibwa yadde okusaasaanya obulwadde buno.

Ebola ono ekika kya Sudan yakata omuntu omu ng’ono abadde musawo mu ddwaliro e Mulago.

Atweine Ng'ayogera.

Atweine Ng'ayogera.

Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, omuwandiisi ow'enkalakkalira mu ministule y'ebyobulamu, Dr. Diana Atwine yagambye nti obulwadde buno bwa bulabe nnyo bukwata ate butta kye bava bayimukidemu okukozesa obwangu okubwang’anga nga tebunnasaasaana.

Yannyonnyodde nti omusawo ono we yafiiridde yabadde agenzeeko mu malwaliro amalala okwabadde erya Saidina Abubakar Islamic hospital mu distulikitti y'e Wakiso ne Mbale referral hospital nga eno yonna yagendayo kufuna bujjanjabi era bwe baamulemererwa kwe kumukomyawo mu ddwaliro e Mulago gye yafiride nga January 29, 2025 era nga eno mu kumwekebejja ennyo baakizudde nti yafudde Ebola.

Mu kiseera kino abakugu mu kujjanjaba endwadde ezibaluseewo bali mubkunoonya abantu bonna abaabadde bakola n'omugenzi ssaako n’abo ababadde bamujjanjaba  okusingira ddala abasawo , abenganda ze n'ab'emikwano era nga baakafunako 45 nga kuno kuliko abasawo 30.

Olw'okuba nti obulwadde bwa 'Ebola' nabwo bukwata ,bwangu bwakusiiga abalala era busaasaana mangu naddala ssinga abulina abeera atandise okufuna obubonero.

Omusujja, okulumizibwa mu kifuba , okutawaanyizibwa mu kussa , okufuna ekiddukano ,okusesema , okuggwaamu amaanyi , okuvaamu omusaayi mu bitundu by'omubiri byonna n’ebirala bye bimu ku bubonero abasawo bwe bagamba kw’olabira nti omuntu eyakwatibwa obulwadde bwe ' Ebola '

Bataddewo ennamba z'essimu ezitali zaakusasulira okuli 0800-100-066 ne 6767 kw'osobola okuweereza obubaka  ssinga oba oliko omuntu yenna gwe weekengede nti yandiba n'obulwadde buno.

Omulambo gw'omugenzi ab'ebyobulamu basazewo obutaguddiza bang’anda era be bagenda okugwekolerako bakole ne ku by'okuziika  bwe batyo balabude abantu okwewala okumala gakung’aanira ku mirambo gyabo be batamanyi kye bafudde kuba kyangu okuviirako obulwadde buno okusaasaana.

Nga bwe gwali mu biseera bya Covid abantu bakubiriziddwa okunnyikira nga okunaaba mu ngalo n'okwekuuma mu ngeri ezisoboka zonna okulaba nga tebakwatibwa bulwadde buno.