Bya Stuart Yiga
EBIPYA bizuuse ku mukazi Anitah Namakula, omukuumi wa Kamuswaga gwe yakubye amasasi n’afiira mu ddwaaliro e Nsambya.
Namakula yakubiddwa n’agambibwa okuba muganzi we ayitibwa Aggrey Ampumuza, eyafiiriddewo mu kiro ekyakeesa ku Lwokubiri, mu Zooni y’e Boston, mu Divisoni y’e Makindye mu Kampala.
Okunoonyereza kwa Poliisi kulaga nti Omujaasi wa UPDF, omu ku babadde bakuuma amaka ga Kamuswaga agasangibwa mu kitundu kino, eyategeerekese nga Lance Corporal (L/Cpl) David Katamugaya, ye yakubye abagenzi amasasi agaabasse.
Noel Luminsa Bba W'omugenzi Ng'ali N'omwana Waabwe Gwe Yamulekedde.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti waliwo abantu abalala babiri abakyapooca n’ebiwundu by’amasasi okuli; Steven Senkusu, ne Benson Twinamatsiko.
Bba w’omugenzi ayogedde:
Noel Luminsa, akola obwaddereeva, yategeezezza nti omugenzi abadde amulinamu omwana omu Maria Tricia Namuwaya 5, nti kyokka bwe yamufunira mu mwaka gwa 2011, yamusanga n’omwana omulenzi gwe yazaala mu musajja we gwe yasookerako, akolera mu bitundu bya DR Congo.
Yagambye nti olw’okuba emirimu gye gya safari, mukazi we abadde agutwala nga omukisa n’akola by’ayagala w’atali, era ng’ekyokuttibwa n’omusajja Aggrey Ampumuza, agambibwa okuba muganzi we, kyamukubye wala nnyo.
Yagasseeko nti amawulire g’okuttibwa kwa mukazi we yagafunye ali Kigumba, mu disitulikiti y’e Masindi, era ng’eyagamuwadde yakozesezza ssimu ya mugenzi.
Yayongeddeko nti, wadde ng’abadde alina akabaala ke yatandikawo e Konge, ebiseera ebisinga, mukazi we abadde abimala mu ssaaluuni ye esangibwa e Kansanga mu Kiwempe.
Eby’okuziika:
Namakula, agenda kuziikibwa nkya ku saawa 10:00 ez’olweggulo ku kyalo Muyomba, mu disitulikiti y’e Wakiso, kubanga e Kanyogoga nnyina gy’abeera, wafunda kyafuuka kibuga.
Mikwago gy’omugenzi ab’enjawulo bamwogeddeko ng’omuntu abadde tayagala kwerumya, nga kyonna ky’ayagala okulya oba okunywa afuba okulaba ng’akyetusaako.
Olw’okuba Katonda abadde yamuwunda n’akamala, kigambibwa nti abasajja bangi babadde bamwegwanyiza era nga Omuserikale wa Kamuswaga, abadde omu ku bbo.
Wabula abeeby’okwerinda ne gyebuli eno bakyasamba nsiko nga banoonya Katamugaya, agambibwa okuba nga ye yabadde emabega w’ettemu lino.
Byo ebyambalo, emmundu, ne magaziini omwabadde amasasi 24, Poliisi yategeezezza nti baabizudde mu maka ga Kamuswaga, agambibwa okuba omutemu gye yabisudde bwe yabadde tannamalamu musubi.