ABASAJJA basatu abagambibwa okuba abomutawaana mu kutigomya n'okubba abatuuze b'e Kisoro n'emmundu, bakwatiddwa poliisi
Bano kuliko Verensi Habyarimaana ow'eggwanga lya Rwanda ng'abeera mu Kisoro Hill Village , Gerald Irakunda ng'abeera Karumena ng'ono agambibwa okuba omu ku basibe abaatoloka okuva mu kaduukulu ka poliisi e Ruti Mbarara gyebuvuddeko era ng'abadde ayiggibwa.
Omulala eyakwatiddwa ye Imanirakiza . Kigambibwa nti Irakunda yategeezezza poliisi nga bwe balina emmundu era nga baludde nga bagyeyambisa okutigomya n'okubba abasuubuzi mu bitundu omuli Mutolole ne Mugombere.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti emmundu yazuuliddwa era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Agasseeko nga Poliisi e Jinja bweri mu kunoonyereza ku mulambo gw'omukazi ogusangiddwa ku Kyabazinga rd e Jinja , kyokka ng'omugenzi tannamanyika bimukwatako.