BANNNA NRM mu bitundu bya Buganda balaze ebyo Gavumenti byerina okuteekako essira okuddamu okufuna obuganzi obw’amaanyi mu bitundu bya Buganda mu kulonda kwa bonna okwa 2026.
Okulonda okuwedde, NRM yafiirwa ebifo by’ababaka bingi mu Buganda nga bangi baakiteeka kumpereza za Gavumenti obutatuuka bulungi kubantu omuli ezo ezikulakulanya ssaako eby’obulamu n’enjigiriza.
Banna NRM nga basinziira ku kisaawe kye Butemba mu disitulikiti ye Kyankwanzi, balaze ebizibu ebiruma abantu Gavumenti byerina okukwatako okusobola okuzza emitima gy'abantu.

Bannakibiina kya NRM nga bayisa ebivvulu
Omubaka wa Butemba Patrick Bingi Nyanzi yagambye nti abatuuze batawanyizibwa ekibba ttaka, ebisolo by'abagagga okulya emmere yabwe, ba mmanelenda okuwamba density zabwe nebirara.
Yegattiddwako omubaka omukazi owa Kyankwanzi Christine Bukenya Sendawula eyategezezza nti disitulikiti ye erina ebbula lu'y'amalwaliro ssaako agamu okukuzibwa okutuuka ku ssa lwa Health Centre IV.
Abakulembeze baalaze okusomoozebwa okulala okuli eky'amasannyalaze, abakulu ba National Forestry Authority okuwamba ettaka, nensonga endala zebagamba nti zireese abantu bangi okunyigirizibwa.
Kyokka banna NRM baweze okuwagira pulezidenti Museveni awangulire waggulu akalulu akaddako ssaako nabakulembeze ba NRM kumitendera egy’enjawulo olwo empereza etuuke kubantu nga tewali byabufuzi.

Bannakibiina kya NRM nga bali mu bikujjuko
Ssabawololereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka yawadde ba mmanelenda nsalessale wa wiiki emu nga bamalirizza okuddiza abantu densite zaabwe ezaabajjibwako nti bwe kigaana, layisinsi zaabwe zakubajjibwako.
Ono era yategezezza nga bwagenda okusindika tiimu yaba looya e Kyankwanzi okuwoza emisango gy'abebibanja egitubidde mu kkooti.
Yalabudde abalina ebisolo ebitayayiza mu mmere y'abantu nti waliwo eteeka eryaatekebwawo pulezidenti Museveni, nti bano nabo bagenda kukwatibwako n'omukono gw'ekyuma.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab'enjawulo okubadde Minisita w'ebyamasannyalaze Dr Ruth Nankabirwa, omubaka wa Kasambya David Kabanda, omubaka omukazi owa Lwengo Cissy Namujju, omubaka wa Kiboga Keefa Kiwanuka, abakulembeza ba NRM kumitendera egy'enjawulo mu Buganda ssaako abalala.
Oluvannyuma lw'omukolo, abayimbi Stabua Natooro ne Racheal Namiiro baakubye emiziki ssaako n'ennyimba eziwaana pulezidenti Museveni.