ABANTU bangi abatawanyizibwa obulwadde obw’okuzimba ebigere ne beesuulirayo gwa naggamba nga n’abamu baliyita ddogo naye abasawo okuva mu malwaliro ag'enjawulo bavuddeyo okutangaaza ekiviirako ekizibu kino.
DR. Joel Mirembe okuva mu Yita Medical Services annyonnyola nti, okuzimba ebigere si bulwadde wabula kabonero akalaga ekirwadde ekikuluma munda era ebiseera ebisinga bibeera tebiruma.
Omukyala ng'alya enva endiirwa
EBIKA BY'ENDWADDE EBIVIIRAKO EBIGERE OKUZIMBA.
Mirembe agamba nti singa omutima, ekibumba, n’e nsigo biremererwa okukola emirimu gyabyo bisobola okuviirako abantu okuzimba ebigere.
.Ng’ogyeko endwadde ezimenyeddwa wagulu ayongeddeko nti, singa omuntu yeetema ng’alima, obuwuwuka ne buyingira mu kiwundu, asobola okuzimba okugulu era abasinga abataddukira mu ddwaliro baliyita ddogo olwo ne baddukira mu basawo b’ekinnansi oluusi nga kyetaagisa kugenda mu ddwaliro bafune obujjanjambi obw’ekikugu.
Wabula DR. Sylvester Ssemanda omukugu mu ndwadde z’abakuze mu myaka okuva mu ddwaliro e Nsabya yagambye nti, abakadde baterannyo okufuna ekizibu ekyo olwokuba emisuwa gibeera gifunze era n’ategeezeza n’abakyala b’embuto abalina ebigere ebizimbye nga bwebatasaanye kwerariikirira singa bibeera tebimuluma nti kubanga kiva ku buzito bwa mwana
Annyonnyodde nti amagulu okuzimba tegaliiko myaka, omwana omuto, omusajja n'omukazi bonna basobola okuzimba ebigere okusinziira ku ndwadde ezibaluma.
Abantu nga bakola dduyiro okulwanyisa endwadde ezivaako okuzimba ebigere
BYOLINA OKUKOLA OKWEWALA OKUFUNA ENDWADDE EZIZIMBYA E BIGERE.
Semanda yagambye nti omuntu yandikoze dduyiro ekitono ennyo emirundi essatu mu wiiki n’okunywa amazzi waakiri liita ssatu olunaku.
Okwettanira ennyo emmere yomuttaka ezimba omubiri okusinga ku eyo ewa amaanyi okugeza muwogo, Bbalugu, ne Lumonde.
Okwettanira ennyo enva endiirwa nga nakati, ebbugga, ddooddo n’endala.
Okwewala okunywa omwenge ogususe kubanga gw’onoona ekibumba.
Yalabudde abalina endowooza egamba nti omuntu bw’aba azimbye ebigere okujjamu engato n’olinnya mu ttaka ddagala kikyamu oluusi omuntu ayinza okulinnya ku jjinja ate n’afuna obulwadde obulala