November 13, 2025
08:43:56 am
Amawulire

EBISOKO BYAFFE;Ebisoko ebisibuka ku kufuuwa

TUKYAGENDA mu maaso n’okutunuulira ebisoko. Wiikendi eweddetwatunuulidde ebisoko ebisibuka ku kubuuza. Olwaleero ate ka tutunuulire ebisoko ebisibuka ku kufuuwa. Mu byo mulimu bino wammanga:

21st June 2025
0 views
AMANYA G’ENGERO ne MARIAM KYABANGI
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

TUKYAGENDA mu maaso n’okutunuulira ebisoko. Wiikendi ewedde
twatunuulidde ebisoko ebisibuka ku kubuuza. Olwaleero ate ka tutunuulire ebisoko ebisibuka ku kufuuwa. Mu byo mulimu bino wammanga:
1 Okufuuwa omuntu: Ekisoko kino kitegeeza kukyawa oba kuyiwa
muntu. Eky’okulabirako: Ssekisambu yayogereza Naddamba ne bakkiriziganya
okufumbiriganwa naye Naddamba n’amufuuwa n’agenda ne Kibirige.
2 Okufuuyira endiga omulere:
Ekisoko kino kitegeeza kugamba muntu nga tafaayo.
Eky’okulabirako: Okugamba Naluzze okwesonyiwa okugenda ku kyeyo olw’ebyo
ebyali bituuse ku bawala banne kwali kufuuyira ndiga mulere  anti era yamaliriza agenze
era ne bitamubeerera birungi okukkakkana ng’akomyewo.
3 Okukifuuwa ng’okizza munda: Ekyogerwako wano kiwa. Ekisoko kino kitegeeza kwejjusa.
Eky’okulabirako: Luutu baamugamba nti ababbi bangi mu katale gye yali alaga so nga
alina okubeera omwegendereza ennyo si kulwa nga bamubba n’akifuuwa nga akizza munda.
4 Okufuuwa ekintu mu ngombe:
Ekisoko kino kitegeeza kuva ku kintu. Eky’okulabirako: Okuva kitaabwe lwe yafa, eby’okulya obulungi n’okwambala obulungi gattako n’okucakala baabifuuwa mu
ngombe anti kati bwe bafuna ekyemisana, oluusi ekyeggulo kibula. So nga n’engoyetebakyayamba mpya bagula za mivumba eza ssente ensaamusaamu
5 Okufuuweeta olulimi: Ekisoko kino kitegeeza kwogera lulimi bulungi ddala. Eky’okulabirako:
Omukyala oyo omuzungu gw’olengera mu gomesi afuuweeta Oluganda oyinza
okulowooza nti muzaale wa wano era n’erinnya baamuwa lya Naggita

Tags: