KKANSO y’e Mukono eyisizza ekiragiro ekiwera ppaaka ez’ekimpatiira ku mabbalin g’ekkubo.
Ekiragiro kino kiyisiddwa ng’abakulembera ekibuga ky’e Mukono baakamaliriza okusenda n’okusengula abasuubuzi ababadde bakolera mu bibangirizin by’enguudo ez’enjawulo, ekyalese abasuubuzi abali eyo mu bikumi n’ebikumi nga ge bakaaba ge bakomba.
Kati obwanga babutunuulizza abavuzi ba takisi ababadde baakola siteegi kwe batikkira n’okutikkulira abasaabaze naye nga teziri mu mateeka. Town Clerk wa Mukono Centralm Divizoni, Abubaker Wassajja, alagidde aba takisi okuyingira mu ppaaka ya takisi bave ku nguudo olwo ab’ebigere abatambula bafune we bayita n’abasuubuzi
ab’amaduuka bakole nga tebalina bibalemesa.
Wassajja yategeezezza nti, siteegi ezigenda okukosebwa mu nteekateeka eno kuliko eri
wabweru wa ppaaka ya takisi y’e Mukono ku luguudo oluvan e Kampala okugenda e Jinja, eri mu maaso g’eddwaaliro lya Mukono Church of Uganda, eyan Bishop eri ku
kyambuka ku ofi isi za munisipaali y’e Mukono, n’eri ku luguudo oluva e Mukono
okugenda e Kayunga nga ku Paris Corner Supermarket.
Endala kuliko; eri waggulu ng’oyise ku Colline Hotel eriko ezigenda e Jinja, Mbale, Busia n’awalala, eziri e Wantoni n’eziri ku luva e Wantoni okugenda e Kisoga n’e Nyenga. Wassajja era yagambye nti, mu nteekateeka eno n’abavuzi ba biroole okuli ababadde basimba wabweru w’eddwaaliro lya Mukono Church of Uganda nabo bagenda kubaggyawo babasindike ku lw’e Nabuti awali bannaabwe abalala gye basimba mu kiseera kino.
Wabula bo abamu ku ba biroole ababadde basimba mu ppaaka, bano yategeezezza nti, bagenda kubasindika ku luguudo lwa Colline Street kubanga era gye baasimbanga.
“Yonna gye batusindika enteekateeka temala. Bw’otunuulira ppaaka, ntono teyinza kumala mmotoka zonna zibadde ku siteegi kuli ezikolera ku lw’e Bugerere, ezikolera ku Kampala Road. Kyokka n’abasaabaze kiyinza okubabeerera ekizibu okuyingira mu
ppaaka ne bwe tunaaba nga ffe Meeya w’e Masaka ayimirizza ebikwekweto by’okumenya obuyumba bw’oku nguudo Moureen Namubiru eyafudde k lw’e Ssentema. tugonze ne tuyingirayo, nze nzikiriziganya n’eky’okuyingira mu ppaaka,” Jackson Ddungu, akolera ku siteegi y’oku lw’e Kampala ku ddwaaliro.
Ssentebe wa siteegi y’e Busia, Joseph Ssenyonjo akukkulumidden abakulembeze be baakalonda n’abo ababadde mu buyinza okumala ebbanga nga bino byonna bikolebwa ku bantu naye basirise busirisi. Abdul Latif Kaggwa, nga wa biroole yategeezezza nti, bbo ng’aba biroole balina ebbaluwa za kkooti ezibakkiriza okubeera ne siteegi awo ku ddwaaliro nga kino baakikola oluvannyuma lw’okuba nti, kkanso yalemererwa m okubateekerateekera we bateeka siteegi awatuufu. Eyali omumyuka wa Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Livingstone Zziwa yategeezezza nti, eky’okuggya siteegi za takisi ku makubo si kibi singa abakulembeze babeera n’ebifo ebiteekeddwateekeddwa gye bagenda okubazza