Ebintu ebibalirwa mu bukadde bw'ensimbi bitokomokedde mu muliro ogukutte amayumba mu Kampala

Ebintu ebibalirwa mu bukadde bw'ensimbi, bitokomokedde mu muliro ogukutte amayumba mu Kampala. 

Ebintu ebibalirwa mu bukadde bw'ensimbi bitokomokedde mu muliro ogukutte amayumba mu Kampala
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Ebintu ebibalirwa mu bukadde bw'ensimbi, bitokomokedde mu muliro ogukutte amayumba mu Kampala. 

Omuliro gukitte amayumba g'embaawo mu Kakajjo Kisenyi mu Kampala era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso. 

Kigambibwa nti waliwo omuwala avudde mu mbeera n'ayiwa amafuta mu kisenge ekimu n'akoleeza omuliro ng'alumiriza munne, okusinda omukwano ne muganzi we mu nnyumba ezo. 

Ennyumba eziyidde, kigambibwa nti abasulamu babadde basasula shs 2,000 / buli kiro okusobola okwebakamu era ng'abintu byabwe bingi biyidde. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango agambye nti abamu basobodde okutaasa ebimu ku bintu era nga mu kiseera kino, okunoonyereza ku kivuddeko omuliro, kugenda mu maaso.