Ebifaananyi 8 nga Kabaka awanikayo ebizizzi mu nju Muzibu-Azaala-Mpanga e Kasubi

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alabikako eri Obuganda era n’akola omukolo ogw’ennono ogw’okuwanika ebizizzi ebikulu bisatu mu kasolya k’enju Muzibu Azaala-Mpanga omugalamidde ba Ssekabaka ba Buganda bana mu masiro e Kasubi eri mukuzzibwawo.

Ebifaananyi 8 nga Kabaka awanikayo ebizizzi mu nju Muzibu-Azaala-Mpanga e Kasubi
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision
#Amawulire

Yatuuse mu masiro ku 11:00 ng’obudde bukya ku Lwokuna September 30, 2021 ng’ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,Minisita w’obuwangwa n’obulambuzi David Kyewalabye Male, Al-Hajj Kaddu Kiberu, ssentebe w’olukiiko lw’okuzzaawo amasiro wamu ne Nnalinya Beatrice Namikka bw'abadde agenda okutuukiriza obuvunanyizibwa buno obukulembera okusereka kw’enju eno.

Mayiga anyonyodde ekitutte Kabaka mu masiro ng’obudde bukyakutte ate n’alambulula n’emikolo gyakoleddeyo;

‘Olwaleero Ssaabasajja Kabaka yenyinni awanise ebizizzi ebisatu ebikulu ebisookerwako ku bizzizzi ebyotooloodde eddaali ery’enju Muzibu-Azaala-Mpanga. Ssabasajja Kabaka alinye ng’akaatiriza obukulu bw’omulimu ogwakolebwa bajjajjaabe mu kuzimba Muzibu-Azaala-Mpanga.

Obuvunanyizibwa bwe obumu abwawulizaako omugabe we Omulangira Daudi Chwa ng’ono mwana w’Omulangira Micheal Ndawula omwana wa Ssekabaka Muteesa II’, ,Mayiga bwe yategeezezza.

Kabaka yagenze n’amakula n’agakwasa Katikkiro w’amasiro David Nkalubo ali mu buufu bwa Katikkiro Mukasa ow’omusu.

Kabaka ayambaziddwa ebifundikwa bibiri ebimwawula ku balangira abalala n’abantu mu Buganda.

Oluvanyuma lw’emikolo gino gye yakoze,okusereka kwa Muzibu-Azaala-Mpanga kwatandise mu butongole nga kusuubirwa okutwala emyezi 18-24.