Bya Henry Nsubuga
Omugagga Muzzanganda asabuukuludde ennyumba galikwoleka n’agaba emmotoka nnya mu baana n’emu eri maamawe.
Omu ku bagagga b’e Kampala n’e Mukono, Wilson Mukiibi Muzzanganda alaze amaanyi agalese bagagga banne nga boogera obwama bw’akoze omukolo ogw’okuyingira ennyumba ye galikwoleka n’okukolera abaana be mukaaga abamaze okusoma ku yunivasite ez’enjawulo akabaga.
Muzzanganda amanyiddwa ennyo nga Ssaababendobendo, ennyumba galikwoleka yagizimbidde omu ku bakyala be, Sarah Muzzanganda ku kyalo Nassuuti mu munisipaali y’e Mukono.
Abaana Abaatikkiddwa, Abalabirizi, Bukenya Ne Matovu, Muzanganda, Jjajja Nantongo, N'omulangira Wassajja N'omuzaana Mu Kifaananyi Eky'awamu.
Omulangira Wassajja Ng'ayogera, Ku Kkono Ye Muzzanganda.
Bp. Bukenya Ng'asabira Emmotoka Muzza Gye Yawadde Maamawe Nantongo. Ku Ddyo Ye Mulangira Wasajja.
Muzzanganda Ng'ayogera, Ku Kkono, Ye Mukyalawe Sarah Gwe Yazimbidde Amaka.
Mukyala Wa Muzzanganda, Sarah Afukamidde Okumwebaza Olw'enju Gy'amuzimbidde.
Muzzanganda N'abaana Be Abaamaze Emisomo Nga Banyumirwa Endongo.
Emmotoka Gye Baawadde Omwana Nakijoba.
Omukolo guno ogwetabyeko Omulangira David Wassajja n’Omuzaana Marion Nankya gwakulembeddwa n’okusaba okwakuliddwamu omulabirizi w’e Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu ng’ayambibwako ow’e Mityana eyawummula, Dunstan Kupliano Bukenya.
Abaana ab’amaze okusoma omukaaga kuliko; Stanley Kikuyo, Joyce Nandi, Aidah Nabukalu, Paul Musisi, Jane Nakato, Julius Lubbo, Harriet Mukiibi, Zephania Kitooke Banalekaki ne Joyce Nakijoba.
Muzzanganda yagambye nti bano bawezezza abaana 15 ku b’azaala abaakamala emisomo ne ddiguli mu yunivaasite ez'enjawulo.
Muzzanganda Ng'akwasa Omu Ku Baana, Zephania Kitooke Kkaadi Y'emmotoka Gye Yamuwadde.
Omulabirizi Matovu yakalaatidde abaana bano okwewala okutundanga ebintu bya kitaabwe nga balowooza bye bijja okubayamba nabo okugaggawala n’agamba nti bwe balikola olwo okusoma kuliba kubamenyedde bwereere.
Ate omulangira Wassajja yategeezezza Bannayuganda okumanya nti okusoma ekitono tekikyakola makulu mu Uganda ya leero. Yagambye nti oli okufuna dipulooma oba ddiguli olwo n’anoonya omulimu nga ne bw’aba agufunye, ekiseera kitono bw’aba teyeeyongeddeeyo kusoma guba gukyasobola okumuyita mu ngalo ng’abalina ebitabo ebimusinga batuuse.
Muzzanganda Ng'ayogera, Ku Kkono Z'emmotoka Ezimu Ku Z'a Gabidde Abaana.
Yawadde amagezi buli muntu okulowooza ku kuddayo asome ate bakimanye nti n’emu ku nsonga ezikyasinze okulemesa abantu bwe butalowooza ku tekinologiya n’ennimi ez’enjawulo ng’abasinga bamanyi Luganda na Luzungu ekitamala, nga kyetaagisa okuyiga n’okusoma ennimi endala kigaziye emikisa gyabwe.
Ng’okusaba kuwedde, Omulangira Wassajja yakwasizza maama wa Muzzanganda emmotoka empya ng’eno yamuweereddwa mutabani we. N’abaana ba Muzzanganda okuli Joyce Nakijoba ng’ono yakuguse mu mateeka okuva ku UCU yamuwadde emmotoka eya buyonjo sso ng’ate abalenzi basatu okuli; Julius Mutyaba, Zephania Kitooke ne Stanley Kikuyo yabawadde emmotoka ekika kya ‘box body’ enkozi z’emirimu.
Muzzanganda N'abayizi Ba Muzza High School Nga Basanyusa Abagenyi Be.
Muzanganda Ne Mukyala We Nga Bakoona Ddansi
Akulira olukiiko lwa Buganda Twezimbe olugatta abagagga ab’enjawulo abakolera awamu ku mirimu gy’Obwakabaka, Freeman Kiyimba asiimye Muzzanganda olw’okujjukira mukyala we ono gw’agambye nti bwe baatandika egy’obusuubuzi mu Kikuubo mu Kampala ng’omuzimbira ennyumba efaanana bw’eti kiraga nti ajjukidde era n’asiima emirimu gy’amukoledde.
Abamu Ku Baana Ba Muzzanganda Abaamaze Emisomo Nga Banyumirwa Endongo Ku Kabaga Ke Yabakoledde E Nasuuti.
Ye RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka agambye abaana abamaze emisomo nti balina okumanya nti ettutumu lya kitaabwe liyinza obutabayamba wabula balina okwesalira amagezi okulaba engeri gye bayinza bwe okuwaguza okufuuka ab’amaanyi nga ye.
Abakulu b’ekika okuli; ow’Engo, Keeya Mutesaasira, ow’Engeye Omutaka Kasujja Sheba Kakande ne Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko nabo basibiridde abatikkiddwa entanda. Ne babasaba okubeera abeesigwa, abassa ekitiibwa mu Nnamulondo, abakozi nga kitaabwe era abawa abalala ekitiibwa.