OMULABIRIZI w’Obulabirizi bw’e Mukono Enos Kitto Kagodo ajjuzza akakonge ka Bukedde aka Gabula ssekukkulu ‘Sadida’ n’akubiriza abantu okukajjuza bawangule bayite mu ssekukkulu n’akamwenyu ku matama nga bawangula ebirabo ebyasiddwamu.
Omukungu Wilson Mukiibi Muzzanganda ng'ayuzaamu akakonge ke yajjuzza.
Enteekateeka ya Gabula Ssekukkulu omwaka guno awagiddwa Dura Motors, abakuleetera ppikipiki ekika kya Senke ne Tuk Tuk Zongshen era abaawaddeyo Tuk Tuk ez’okuwangulwa,Uga Chick abaawaddeyo enkoko kabeddwa ey’abawanguzi gye bagenda okufumba ku ssekukkulu , Governors Hotel Ltd e Mukono bano baakusuza abawanguzi bataano n’abagalwa babwe ebiro bibiri mu woteeri eno ey’omulembe.
Omulabirizi yasiimye Bukedde olw’okuddiza ku bantu era n’ajjuza akakonge ng’akabonero ak’okukunga abantu okukajjuza beefunire ku bintu ebyasiddwawo.
Omulala eyeetabye mu kujjuza ye Ssaababendobendo omukungu Ssaalongo Wilson Mukiibi Muzzanganda era naye yakunze abantu naddala Bannamukono okwenyigira mu mukisa guno beefunire ku birabo bino.
Omulabirizi Kagodo ng'ajjuzza akakonge.
Buli mwaka nkola ya Bukedde Olupapula ne bannamikwago baalwo okuddiza ku bantu baayo ng’ejaguliza wamu nabo amazaalibwa ga Mukama waffe era ku luno ekintu kinyuvu nnyo.
Okuwangula ogula olupapula lwa Bukedde ku 1,000/- lwokka n’ojjuza akakonge akali ku muko ogw’okubiri oluvannyuma n’okatwala ku ofiisi za Vision Group efulumya ne Bukedde mu Industrial Area oba okukawa omu ku batunda amawulire ga Bukedde n’akatutuusaako.