Dr. Kazimba akalaatidde abayizi ku by’okusoma

SSABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu akalaatidde abayizi obutakoma ku kya kusaba kwokka wabula basseemu n’amaanyi mu bye basoma bwebajja okuyita kubanga ne Katonda ayamba yeeyamba.

Abayizi n’abasomesa nga baaniriza Ssabalabirizi Kazimba. Asibye ettaayi ye Muzzanganda
NewVision Reporter
@NewVision

SSABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu akalaatidde abayizi obutakoma ku kya kusaba kwokka wabula basseemu n’amaanyi mu bye basoma bwebajja okuyita kubanga ne Katonda ayamba yeeyamba.
Mu ngeri yeemu, abasabye okussaamu bazadde baabwe ekitiibwa kubanga emikisa kwegitandikira.
Kazimba yabadde akyadde mu Bulabirizi bw’ e Mukono ku ssomero lya Muzza High School gye yasabidde abayizi ba S4 ne S6 abeetegekera okutuula ebibuuzo byabwe eby’akamalirizo ebibindabinda.
Yasinzidde wano n’ajjukiza abazadde nti buvunaanyizibwa bwabwe okusabira abaana baabwe baleme okubawonga mu mizimu n’emisambwa naye babawonge mu mikono gya Katonda ayinza byonna. Yasiimye ssomero lya Muzza olwokugatta ettofaali eddene ku kugunjula abaana ba Uganda nga bettanira ebyenjigiriza eby’omutindo.
Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kagodo Kitto yategeezezza nti essomero lya Muzza likoze kinene mu kutumbula empisa n’eddiini mu bayizi era n’asiima obukulembeze bw’essomero lino obukulemberwa Wilson Mukiibi Muzzanganda.
Omulabirizi eyawummula William Ssebaggala naye yasibiridde abayizi bagenda okutuula ebigezo okubeera abavumu nga babikola kibayembe okuyita kubanga ne Bayibuli eyogera nti okutya ye mulabe w’omuntu asooka.
Dayirekita w’essomero lino Ssaalongo Wilson Mukiibi Muzzanganda yawadde abayizi amagezi okusoma nga baagala era beebereremu ng’enjogera y’ennaku kubanga bo abasomesa babawaekisingayo.
Akulira essomero Annet Tusiime yagambye nti omwaka guno balina abayizi ba S4 86 ne S6 84 era n’agumya abazadde nti abayizi babateeseteese ekimala kati balinda lunaku mulindwa.
Saabalabirizi Kazimba nga tannakola mukolo gwakusabira abayizi yasoose kuggulawo ekisulo ky’abalenzi ku ssomero lino era n’akuutira abavubuka okukozesa ebintu ebirungi ebibateereddwawo okugatta omutindo ku nsoma yaabwe. Abakungu okuva mu gavumenti ya wakati ne Mmengo okuli Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitoleko, Namasole Damalie Nantongo Muganzi , omuduumizi wa poliisi mu Kampala Moses Kafeero n’abalala baabaddewo.

Login to begin your journey to our premium content