KATIKKIRO wa Buganda Charles Mayiga asibiridde abaami b'amasaza abaggya entanda okwekwata ennambika okuli Ensonga Ssemasonga etaano, enkola Nnamutayiika saako n'enkola z'omulembe omuggya Okutambuza emirimu gyaabwe.
Mayiga agamba nti bino byakubasobozesa Okutambuza emirimu gyabwe nga bali mu buufu. Ensonga ssemasonga kuliko Okukuuma n’okutaasa Nnamulondo,okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda,okugabana obuyinza mu nkola ya federo,okukola obutawera ate n’obumu.
Okwogera bino yabadde asisinkanye abaami b'amasaza abaggya n'abamyuka bwaabwe abazze e Bulange-Mmengo ku lwokuna April 18, 2024 okweyanjula n'okulambikibwa kweebyo byebalina okugobererwa mu ntambuza y'emirimu.
"Mu nkola ey'omulembe omuggya mulimu obuyiiya,obweruufu,obunyikivu ate n'okukola n'okwagala. Bwebanagoberera ebyo saako n'okutambulira wansi w'ensonga Ssemasonga eza Buganda n'enteekateeka Nnamutayiika,emirimu gijja kutambuzibwa bulungi," Mayiga bweyagambye.
Mayiga era yasinzidde wano n'ategeeza ng'enkyukakyuka mu baami ba Kabaka bwezibeerawo buli kiseera n'olwekyo nga tewali kisaana kweralikiriza.
Katikkiro yebazizza abaami ba Kabaka abaawumudde mu nkyukakyuka ezalangiriddwa ku lwa Mmande lwa wiiki eno olw'emirimu gyebakoledde Obuganda.
"Enkyukakyuka mu buwereeza bw'Obwakabaka zibeerawo buli kiseera. Zisobola okubeera mu b'emiruka,ggombola,abamasaza ate era zikolebwa ne ku Bakatikkiro. Njagala okwebaza abaami bonna abamasaza n'abali ku mitendera emirala abaawumudde olw'emirimu n'obuwereeza bwebakoze. Okuwummula okwo kulinga bwolaba mu mupiira, omuzannyi n'akyusibwa nebaleeta omulala,tekitegeeza nti abeera akoze bubi naye kibeera kigendereddwamu okwongeramu amaanyi mu ttiimu n'obuwereeza bwaffe bwe butyo bwe buli," Mayiga bweyagaseeko.
Ye Minisita wa gavumenti ez'ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki yakubiriza abaami bano bulijjo okuwulirizanga okulambika okuva e Mmengo ku buli nsonga zebakola,balyoke bafune entereeza entuufu ezaaavamu obuwereeza obuyamba abantu.
David Lule Mutyaba Muzzanganda nga ye Mumyuka asooka owa Kkangaawo ku lwa banne yebazizza Ssabasajja olw'okubalondobayo n'abawa obwaami bwagambye nti bagenda kukola okufiirawo okubutuukiriza.
Mu nsisinkano eno abaami bano bawereddwa fayiro omuli ebiwandiiko eby'enjawulo kwebalina okutambulira ate n’okusomesebwa bwebalina okweyisaamu mu buwereeza.