Abalina ebizimbe mu kibuga Mukono beekubidde omulanga eri minisitule y’ebyettaka okubataasa ku bafere abeesomye okwezza ebizimbe byabwe mu lukujjukujju.
Bano basinzidde mu lukiiko lwe babaddemu n’abakakiiko k’ebyettaka ne banyonyola nga zi bbanka ez’enjawulo bwe zizze zaagala okutwaala ebizimbe byabwe olw’amabanja ge batamanyiiko mayitire.
Bano bagamba nti oluvanyuma lwa gavumenti okussaawo enkola empya eya tekinologiya ekwata ku by’ettaka, bangi naddala abo abalina ettaka lya liizi ebizimbe byabwe kwe bitudde abafunye okusomoozebwa olw’abantu ababyewolerako ensimbi era ng’ebimu biri mu lusuubo olw’okutwalibwa zi bbanka kyokka ng’amabanja agagambibwa okuba nti gaaliibwa ku bizimbe byaabwe, bbo nga ba nyini byo tebagamanyiiko ne basaba okuyambibwa.
Omu ku bbo Ronald Kyeswa ategeezezza nga bwe wazze wavaayo abantu ba mirundi ebiri ne bamutegeeza nga bwe balina obwa nnanyini ku ttaka ekizimbe kye kwe kitudde era nti n’ebyapa babirina ekintu ky’azze yewuunya nga ne gyebuvuddeko bbanka gy’atayatuukirizza mannya yayagala okumugoba mu kizimbe kye olw’amabanja g’ateewola kyokka n’ataasibwa ab’eby’okwerinda.
Wilson Muzzanganda asinzidde wano ne yewuunya obwangu obukozesebwa mu kufulumya ebyapa eby’ekifere kyokka ebyo ebituufu ne birwaawo okufuluma n’agamba nti wandiba nga waliwo ekkobaane wakati wa ofiisi y’eby’ettaka ne zi bbanka ng’akakodyo ke bakozesa okwagala okutwala ebizimbe byabwe.
Ssentebe w’abasuubuzi mu Mukono Patrick Mubiru ategeezezza ng’embeera eno bw’ekaluubiriza ennyo abasuubuzi olw’ensonga nti bangi ku bbo tebakyasobola kukozesa byapa byabwe kwewola nsimbi mu bbanka olw’ekizibu kino ate ng’abalala bbo basula ku tebukye olw’okutya ebizimbe byabwe okutwalibwa.
Asabye ab’ebyettaka e Mukono ne minisitule okukomya okwogera obwogezi ku nsonga eno wabula babeeko kye bakola okutaasa ebizimbe by’abasuubuzi mu Mukono.
Rdc Fatumah Ndisaba Nabitaka anyonyodde nga ofiisi y’ebyettaka bwe yatandise ku kaweefu ow’okulaba nga bateeka ekkomo ku ky’okwewolera ku byapa ebisuka mu kimu ebitudde ku ttaka lye limu okutuusa ng’embeera eno egonjoddwa,n’agumya abasuubuzi nga bwe batagenda kukkiriza mbeera yonna ebanyigiriza okubatuukako.
Stephen Ndegeya akulira abapunta b’ettaka mu Mukono akakasizza ng’emivuyo gy’ettaka e Mukono bwe gibasukakko kyokka n’abasaba okubayambako bakwatire wamu okunogera ekizibu kino eddagala era n’asuubiza nti omwaka guno we gunaagweerako ekizibu kino kigya kuba kigonjoddwa