Omulabirizi Kitto Kagodo ajjuzza akakonge ka Gabula Ssekukkulu

OMULABIRIZI w’Obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ajjuzza kakonge ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ n’akubiriza abantu okukajjuza bawangule ebirabo ebyasiddwaamu bayite mu Ssekukkulu n’akamwenyumwenyu ku matama.

Omulabirizi Kagodo ng’ajjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu.
NewVision Reporter
@NewVision

OMULABIRIZI w’Obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ajjuzza kakonge ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’ n’akubiriza abantu okukajjuza bawangule ebirabo ebyasiddwaamu bayite mu Ssekukkulu n’akamwenyumwenyu ku matama.
Enteekateeka ya Gabula Ssekukkulu ey’omwaka guno, ewagiddwa Dura Motors, abakuleetera ppikippiki ekika kya Senke ne Tuk-Tuk Zongshen era baawaddeyo Tuk-Tuk ez’okuwangulwa, Uga Chick abaawaddeyo enkoko, abawanguzi ze bagenda okufumba ku Ssekukkulu , Governors Hotel Ltd e Mukono bano baakusuza abawanguzi bataano n’abaagalwa baabwe ebiro bibiri mu wooteeri eno ey’omulembe.
Omulabirizi yasiimye Bukedde olw’okuddiza ku bantu era n’ajjuza akakonge ng’akabonero ak’okukunga abantu okukajjuza beefunire ku bintu ebyasiddwawo. Omulala eyeetabye mu kujjuza y’omukungu Ssaalongo Wilson Mukiibi Muzzanganda, era naye yakunze abantu naddala Bannamukono okwenyigira mu mukisa guno beefunire ku birabo bino.
Buli mwaka, nkola ya Bukedde Olupapula ne bannamikwago baalwo okuddiza ku bantu baayo ng’ejaguliza wamu nabo amazaalibwa ga Mukama waffe era ne ku luno, ekintu kinnyuvu nnyo.
Okuwangula ogula olupapula lwa Bukedde ku 1000/- lwokka n’ojjuza akakonge akali ku muko ogwokubiri oluvannyuma n’okatwala ku ofiisi za Vision Group efulumya ne Bukedde mu Industrial Area oba okukawa abatunda amawulire ga Bukedde ne bakatuusa ku ofiisi

Login to begin your journey to our premium content