Ddiiru ya Lukwago ne NUP ereka wa Balimwezo ku kya Loodi Meeya

Bwe bampadde okukulira ebyenguudo mu Kampala enjawulo mugiraba zonna zikolebwa misana na kiro,” Balimwezo bwe yagambye. Lukwago yasangiddwa ali bweru wa ggwanga, kyokka omu ku bali mu nkambi ye ataayadde kumwatula mannya yagambye nti: “Obudde bukyali nnyo okulowooza nti Balimwezo aneesimbawo kuba bangi abazze beegwanyiza ekifo ky’Obwaloodi Meeya ne bavaamu nga tewali abagobye.

Nalukoola (ku kkono) ng’awayaamu ne Lukwago mu kampeyini e Kanyanya.
NewVision Reporter
@NewVision

Bwe bampadde okukulira ebyenguudo mu Kampala enjawulo mugiraba zonna zikolebwa misana na kiro,” Balimwezo bwe yagambye. Lukwago yasangiddwa ali bweru wa ggwanga, kyokka omu ku bali mu nkambi ye ataayadde kumwatula mannya yagambye nti: “Obudde bukyali nnyo okulowooza nti Balimwezo aneesimbawo kuba bangi abazze beegwanyiza ekifo ky’Obwaloodi Meeya ne bavaamu nga tewali abagobye.
Bano kuliko; Fred Nyanzi ne Ali Kasirye Nganda Mulyannyama. Lukwago alina ensonga, kw’ayimiridde ez’okulwanirira omuntu waabulijjo mu Kampala era buli ayagala ekifo kye bw’ategeera obuzito buno tadda.
Omulimu guno muzibu nnyo era Lukwago yekka y’agusobola. Mu NUP mwennyini
bw’otegekayo akalulu, Lukwago awangulirayo Balimwezo kuba bangi ku bakulembeze b’azze awolereza, abalala y’abatendese ebyobufuzi n’abalala babadde naye mu ntabaalo z’ebyobufuzi eziwera era tomubaggyaako,” omukulembeze omu mu Kampala bwe yagambye.
Waliwo ab’oludda oluvuganya abalowooza nti wandibaddewo enteeseganya Balimwezo n’atavuganya Lukwago bwe bafaanaganya endowooza, ekintu ekiyinza okubaviirako okuwangulwa ow NRM. Ate abalala bagamba ab’oludda oluvuganya ne bwe bajja 10 tekirina ngeri gye kiyambamu NRM kuba abalonzi bo beegattira ku muntu omu olubeerera nga wa ludda oluvuganya.
Olutalo lwa yinginiya ne looya bagamba lulina kusalwawo alonzi ne balondako abasingira Ebyafulumizibwa akakiiko k’ebyokulonda biraga nti okulonda Pulezidenti, ababaka ba Palamenti, abakulembeze ba Gavumenti z’ebitundu (City/Disitulikiti/ Munisipaali/amagombolola) kujja kubeerawo wakati wa January 12 ne February 9, 2026.
ENGERI LUKWAGO GY’AZZE YEEKUKUUTIRIZA KU NUP
Lukwago ow’ekibiina kya Peoples Front for Freedom (PFF) ate nga yava mu FDC aliko embeera gy’ataddewo ey’okulaga nti balinnya mu kimu n’aba NUP, etuusizza n’abamu okulowooza nti si gwe bandibadde boolekeza emmundu.
Ekikyasembyeyo y’engeri Lukwago gye yagenze mu lukung’aana lwa Erias Luyimbazi Nalukoola owa NUP e Kanyanya n’amusabira obululu ku kifo kya Kawempe,  North kye yawangudde. Lukwago yayogedde ebigambo ebyawaanye Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi ebyalese abawagizi nga batabuddwa engeri gye bagenda okulwanyisaamu owoomukago.
“Njagala okwebaza Pulezidenti  Kyagulanyi olw’okutukulemberamu obulungi kuba atuwanguzza okulonda okuwerako okuzze kuddibwamu nga e Hoima, Rukungiri, Jinja East n’awalala. Ne ku mulundi guno nga Pulezidenti Kyagulanyi atukulembeddemu ffenna Nalukoola ye waffe era kye nsaba bulijjo tuwagire omuntu omu ku buli kifo,” bye byabadde ebigambo bya Lukwago bwe yabadde mu kampeyini za Nalukoola.
KYE BOOGERA KU MBIRANYE YA LUKWAGO NE BALIMWEZO
l Munnabyabufuzi omugundiivu Wasswa Lule, eyaliko omubaka wa Lubaga North, yagambye nti okuvuganya mu bibiina tekulinbuzibu bwonna era Lukwago ne Balimwezo buli omu yeeteeketeeke okwang’anga munne abalonzi basalewo.
Lule agamba nti tewali kyeraliikiriza mu b’oludda oluvuganya okuvuganya ku kifo ekimu naddala mu kibuga kuba NRM ne bw’ekola etya, tesobola kuwangula kafo konna mu kibuga.
l John Ken Lukyamuzi, pulezidenti wa Conservative Party ra eyaliko omubaka wa Lubaga South yagambye nti NUP erina okukkiriza okubaako ebifo by’efiirwa n’ebiwa
abalwanyi abalala abava mu bibiina ebirala nayo esobole okufunamu.
Ekimu ku bifo ebyo kye kya  Loodi Meeya, ky’eterina kutaataaganya wadde akatono kuba Lukwago akyali wa maanyi nnyo ate ‘situlago’ ekyamwetaaga. NUP yagiwadde amagezi nti singa enekkiriza okulekera ebibiina ebirala, nayo bijja kugiyamba mu
kukuuma n’okusaggulira Kyagulanyi akalulu naddala mu bitundu NUP gy’eterina mirandira bulungi.
Lukyamuzi era yagambye nti omuntu eyawa Balimwezo amagezi okuva ku kifo kya Nakawa East wa bulabe nnyo gyali era bw’anaakikola, ajja kuba yeetuze ng’alaba.
“Eby’okutuusa obuweereza ku bantu Balimwezo byeyeesibyeko tebikola mu Kampala kubanga Kampala alimu ensonga z’ebyobufuzi ezikwata ku ggwanga lyonna, nga Mmeeya atali wa byabufuzi aba tasobola kumalako.
Okuzimba emyala n’enguudo tumanyi ababikola nga mmeeya ogugwe gwa kubateeka ku nninga ekirina okukolebwa munnabyabufuzi kakongoliro nga Lukwago” Lukyamuzi bw’agamba.
l Ate eyaliko omubaka wa Kawempe South, Ssebuliba Mutumba, yagambye nti eddagala lyokka eririwo, lya NUP ne Lukwago okutuula ku mmeeza ne baleeta omuntu omu
era ne bagatta amaanyi okusobola okuwangula NRM.
Ebyabadde mu kalulu k’e Kawempe, Mutumba agamba nti bigenda kweyongera kuba NRMyatabuse nnyo, nga singa ebasanga nga mulwanagana eba egendam kubanyiga mwembi nga teri ataasa munne, emale ebawangule.
Ate singa okwegatta kugaana ku kifo kya Loodi Meeya, Mutumba yalabudde nti n’ebifo ebirala ebiri wansi abeesimbyewo bagendam kwetemaatemamu, nga balwanagana
bokka na bokka, kiwe NRM omukisa okubaabuluza kubanga ejja kusanga banafuye.
Yasabye abakulu mu NUP obutabuusa nsonga eno maaso, bafube okulaba nga bagenda mu Mberaze Ffugge Mpuuga kalulu nga bali bumu ’ebibiina ebirala.
l Mmeeya w’e Makindye, Ali Kasirye Nganda Mulyanyama yagambye ti ye ng’owa NUP awagira Balimwezo kuba obusobozi abulina obumufuula Loodi Meeya omutuufu era kw’asibidde.
“Ebintu Balimwezo bye yakola ng’akyali mmeeya we Nakawa buli omu abimanyi.

 Ekibiina kya NUP kya maanyi ekisobola okusimba abakulembeze ku buli kifo awatali kukugirwa,” Mulyanyama bwe yagambye.
TUGENDA KUVUGANYA KU BWALOODI MEEYA – NUP
Amyuka omwogezi wa NUP, Waiswa Mufumbiro yagambye nti ekibiina kya NUP  ekikolera mu kuteebereza, era pulaani eriwo ya kusimba bantu ba NUP ku buli kifo mu kalulu ka 2026, nga n’Obwaloodi Meeya kwe buli. Yayongeddeko nti Loodi Meeya wa
Kampala mu 2026 agenda kubeera wa NUP, kubanga tewali ngeri Pulezidenti gy’abeera wa NUP ate nga meeya w’ekibuga ekikulu si wa NUP.

EBIKWATA KU BALIMWEZO
Ying. Balimwezo alina diguli bbiri mu byobuzimbi era mu kiseera kino ye ssentebe w’akakiiko k’ebyenguudo aka KCCA Roads Committee akalabirira ebyenguudo mu Kampala.
Balimwezo amanyiddwa nga munnabyabufuzi omukozi ow’ebikolwa atali wa bigambo byokka nga kino bakyesigamya ku bintu bye yakola ng’akyali meeya w’e Nakawa nga okuyoola kasasiro. Alina obumanyirivu mu byobufuzi kuba yabitandikira ku LC 1, LC 2, kkansala ku KCC, meeya wa Nakawa era nga kati mubaka wa Nakawa East.
ERIAS LUKWAGO
Lukwago munnamateeka alina kkampuni ya Lukwago and Company Advocates emanyiddwa mu kuwoza emisango egyekuusa ku nfuga y’amateeka n’eddembe ly’obuntu.
Yaliko omubaka wa Palamenti owa Kampala Central (2006-2011) ku tikiti ya DP era nga ye yali akulira ebyamateeka mu kibiina era nga yali minisita w’oludda oluvuganya avunaanyizibwa ku byamateeka. Mu 2011 yalondebwa ku Bwaloodi Meeya bwa Kampala ekifo ky’amazeeko ebisanja ebisatu. Ebisanja ebyasooka teyalina kibiina ate kino yajjira ku kaadi ya FDC.
KAWEEFUBE AZZE AKOLEBWA ABA NUP OKUSIGUUKULULA LUKWAGO
Mu kulonda okuwedde, ekibiina kya NUP kyasooka kuwa Latif Ssebaggala kaadi avuganye ku bwaloodi meeya kyokka waayita mbale, Ssebaggala ekifo
n’akisuulawo n’ategeeza nga bwe yali awabuddwa addeyo ku kifo ky’obubaka bwa Kawempe North.  UP yasalawo kaadi okugiwa Nabilah Naggayi Ssempala. Gye
byaggweera nga Lukwago eyali ku tikiti ya FDC awangudde n’obululu 194,592 ate Nabilah n’afuna 60,082. Ku mulundi guno obubonero bulaga nti NUP ereeta Balimwezo (Nakawa East) avuganye ku bwa Loodi Meeya.
Abalala abeegwanyiza Obwaloodi Meeya kuliko; Sebaana Kizito (NRM), Moses Kizito Nsubuga (NRM), Daniel Kazibwe Ragga Dee (NRM), John Bosco Muzzanganda ( DP) ne Issa Ssekitto omwogezi wa KACITA

Login to begin your journey to our premium content