Dr. Kiggundu: Omuwala gwe yali naye mu loogi bamugguddeko gwa kulagajjala

Eva Mbabazi, 31, eyakwatiddwa ku by’okufa kwa Dr. John Bosco Spire Kiggundu, eyali nnannyini ddwaaliro lya Henrob Hospital, e Zzana, agguddwaako gwabulagajjavu.

Dr Kiggundu ne Mbabazi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Eva Mbabazi, 31, eyakwatiddwa ku by’okufa kwa Dr. John Bosco Spire Kiggundu, eyali nnannyini ddwaaliro lya Henrob Hospital, e Zzana, agguddwaako gwa
bulagajjavu.
Mbabazi yakukunuddwa mu kazigo mw’abadde asula e Seeta- Mukono, nga June 30, 2025, ng’akyakuumirwa ku poliisi e Kajjansi.
Kyaddirira okulabikira mu katambi akaakwatibwa ku Dream Guest House, nga June 22, 2025, olunaku lwennyini Poliisi lwe azuula omulambo gwa dokita Kiggundu, ng’afudde mu ngeri eyaleetawo ebibuuzo.
Abanoonyereza ku fayiro eno bagamba nti singa omukazi ono
yayanguwa n’ategeeza ab’oku ‘reception’ ku mbeera eyali etuuseewo ku dokita, osanga
bandisobodde okumuddusa mu ddwaaliro ne bataasa obulamu bwe, wabula yadduka buddusi. Wano we baasinzidde  kumuggulako omusango gw’okulagajjalira omuntu n’afa, era nga wiiki ewedde, Poliisi yatwala ffayiro ye nnamba GEF: 06/2025, ew’omuwaabi wa gavumenti, nga kati y’alindiriddwa okusalawo oba ng’anaatwalibwa
mu kkooti awerennembe n’emisango oba nedda.
Okusinziira ku ssemateeka wa Uganda, omuntu avunaanibwa omusango gw’obulagajjavu ayinza okusibwa emyaka egitakka wansi wa musanvu, okuwa
engassi oba okuweebwa ebibonerezo byombi.
Engeri gye yasisinkana Dokita Kiggundu: Mbabazi yategeezezza Poliisi nti ye n’omugenzi babadde bamaze emyaka musanvu nga bali mu mukwano, okuva mu 2018,
lwe yasooka okumusisinkana bwe yali awerekedde muganda we ayitibwa Jackie Atuhaire, eyali agenze okuzaalira ku ddwaaliro lya Kiggundu.
Yagambye nti ekiseera kye yamala ng’ajjanjaba muganda we, yafuna obudde bungi obwogera ne dokita, ne bafuukira ddala bamukwano, ne bawaanyisiganya ennamba z’essimu okusigala nga bawuliziganya, okukkakkana ng’amuganzizza.
Yannyonnyodde poliisi nti, ku lunaku lwe baasisinkana, omugenzi ye yamukubira n’amusaba ajje amulabeko ne bakkiriziganya ekifo n’essaawa.
Okutuuka mu kifo yalinnya bodaboda era olwatuuka ku Dreams Guest House, n’amulagirira amusisinkane mu kasenge nnamba 111, mwe yali amulindidde.
Agamba yasanga dokita alina obuntu obukebera siriimu, n’amusaba okusooka beekebeze
kuba yali amaze akabanga nga tebasisinkana, naye bw’atyo n’akkirizza olwamala ne beesanyusaamu okumala eddakiira 15.
Nti wabula yalabira awo ng’embeera ya dokita etandika okukyuka n’amubuuza ekituuseewo nga tamuddamu n’atya n’afuluma.
Bwe yatuuka wabweru, yakizuula nti, yali yeerabidde kalifuuwa we, n’addayo okuginona, kyokka era yasanga embeera ya dokita tennakyukako.
Yalinnya bodaboda n’emutwala ewa muganda we, e Lubowa. Yaddamu okukuba ku ssimu ya dokita nga takwata.
Ebyokufa kwa dokita nti yabisomera ku mutimbagano, amagezi ne gamuggwaako