KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ayagala era atumbula obulambuzi ye kennyini ng’asitukiramu okulambula ebyo ebinaasikiriza abalambuzi.
Ng’Obuganda bujaguza emyaka 32 egy’Amatikkira ga Beene, twagadde okukulaga ebyo ebituukiddwaako mu by’obulambuzi wakati mu kulambika kwe.
Ezimu ku minisitule ze yateekawo mu gavumenti kwe kuli n’evunaanyizibwa
ku bulambuzi. Ekitongole ky’ebyobulambuzi kyagaziyizibwa ne kifuna olukiiko olufuzi
olujjuvu olwa Buganda Heritage & Tourism Board (BHTB).
Bwe yali atongoza olukiiko luno olwasooka mu 2015, Katikkiro wa Buganda Charles
Peter Mayiga yagamba nti, luliko abakugu be lugenda okuwaobukulembeze kuba tewali kintu kisobola kukula awatali bukulembeze buluηηamu.
“Obwakabaka nga bwakaddizibwawo, bwazza buggya ebifo ebikulu eby’obulambuzi okutuuka okwettanirwa abantuabava e Bule n’e Bweya. Okugeza Amasiro g’e Kasubi- gano gaateekebwa ku lukalala lw’ebifo eby’omuwendo mu nsi yonna,
Olubiri e Mmengo, Bulange n’ebirala era kati oli bwabituukamu beera tayagala kuvaawo.
Ettu eriweebwa abalambuzi mulimu : Okulambula Amasiro esubi, Embuga y’Obwakabaka e Bulange, Oluguudo Kabakanjagala, Ennyanja ya Kabaka, Olubiri
e Mmengo n’ebirulimu, ekitebeky’ebyobulambuzi ne bawaayo ensimbi omulundi gumu. Abava ebweru ettu eryo balisasulira ddoola za Amerika 100 ate Bannansi, 100, 000/-,” Najib Nsubuga akulira BHTB bw’annyonnyola. Mu kiseera kino Obwakabaka
bwatondawo ekitebe ky’ebyobulambuzi mu Buganda nga kisangibwa mu mbuga
ya Butikkiro- Mmengo. Wano waliwo ofi isi, ekkuηηaaniro y’ebifaananyi, etterekero
ly’ebitabo, ekifo omutegekerwa emikolo munda ne wabweru, ekifo awayolesebwa ebifaananyi, akatale k’ebiyiiye (Buganda Crafts & Art village) ate wateekebwateekebwa
okuzimbwawo ekkadiyizo ly’Obwakabaka gyebujja.
Mu kwongera okusitula eby’obulambuzi, ebimuli ebiri mu maaso g’Olubiri e Mmengo nga biyitibwa Wankaaki Gardens nga y’esinga obunene mu Kampala.
Kikozesebwa abantu bonna lunaku lulamba ng’awaddeyo 1,000/- zokka okukirabirira.
Omwoleso gw’ebyobulambuzi mu Buganda kye kimu ku bintu Kabaka mw’ayise okutumbula obulambuzi. Obuganda bwonna bukuηηaana okujja okulabeby’obulambuzi. Eyaliko Minisita avunaanyizibwa ku Bulambuzi mu Buganda, Rita Namyalo agamba nti, okulambika kwa Kabaka kukoze kinene mu kutumbula obulambuzi.
Okuyita mu mwoleso gwa Buganda, Kabaka yatongoza ekitabo omuli kalonda yenna kwata ku by’Obulambuzi mu Buganda kiyitibwa ‘Buganda the Gateway to the Pearl of Africa’ nga July 3, 2017, era ku lunaku lwe lumu yatongoza ebibumbe by’Ebika ku luguudo Kabakanjagala,” Namyalo bw’agamba.
Mu 2009, Kabaka yatongoza oluguudo Kabakanjagala ng’olw’ebyobulambuzi u ggwanga lyonna. “Luno luwerako mayiro nnamba, kuliko ebibumbe by’Ebika, enkulungo ya Kabaka (Entawetwa), edduuka y’ebyobulambuziku Wankaaki wa Bulange,” Nsubuga bwe yategeezezza.
Enteekateeka y’Obwannalulungi w’ebyobulambuzi kimu kw’ebyo ebitumbudde
obulambuzi mu Buganda.
“Abawala okuva mu Masaza 18 ate tubaleeta mu kifo kimu ne babuuzibwa ku kalonda
yenna akwata ku by’Obulambuzi bya Buganda. Kitumbula ssaako kumanyisa
abantu ebikwata ku by’obulambuzi mu Bwakabaka bwaffe,” Nsubuga bwe yagasseeko.
Minisita w’ebyobulambuzimu Buganda, Dr. Anthony Wamala bwe yabadde atongoza Empaka za Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu April 2025, yategeezezza g’Obulambuzi bwekiri eky’omuwendo ky’okutunza omuntu n’asasula era n’obisigaza.
Obwakabaka bumaliridde okutwala ebyobulambuzi ng’ekintu
eky’omuwendo ekisobola kubuyimirizaawo mu by’enfuna,” Dr. Wamala bwe yayogedde.
Ruth Bisoboka eyakwata ekyokusatu mu mpaka z’obwannalulungi bw’ebyobulambuzi mu Buganda omwaka oguwedde, mu kukulaakulanya obulambuzi yatandise ekitongole ekiyitibwa Bisoboka Voyages and wellness Ltd okuyamba abantu n’okukulaakulanya Obwakabaka