SSEKABAKA Nakibinge bw’ogamba nti, yali mulwanyi ‘Nnamige’ oba tolimbye. Ono akubagana n’abalabe be n’atuuka ’okulwanyisa emmuli ng’amafumu gamuweddeko.
Okulwana Nakibinge yakutandika alwana ne muganda we Juma era bwe yamuwangula n’atuuka ku Nnamulondo. Kyokka ali wa kisa eri Muganda we kubanga teyamutta era
n’amukkiriza n’addukira e Bunyoro. Eky’ennaku Omulangira Juma yakomawo atabaale
Ssekabaka Nakibinge amuggye ku Nnamulondo wabula ku luno teyalutondaOkusinziira ku kitabo ‘Abateregga ku Namulondo ya Buganda’, Kabaka Nakibinge bw’amala okutta Omulangira Juma, omulwanyi we Nnamunkukuulu ate yatta ne mutabani we Omulangira Luyenje era nga yasima kinnya mu nnyumba n’amuttiramu. Kigambibwa nti, Abaganda ekikolwa kino tekyabasanyusa nga bagamba nti, ‘Taata bw’aba ye yasobya, ate omwana otta waaki?’
Mu kitabo ky’Ekitiibwa kya Buganda’, Ssekabaka Nakibinge ye Kabaka wa Buganda ow’omunaana era yali Mutabani wa Kabaka Kayima. Kigambibwa
nti, ono yafuga Obuganda okuva mwaka gwa 1524 okutuuka mu 1954.
Yalwana entalo kafungulankete naddala wakati wa Buganda ne Bunyoro
ea olumu yalaba agenda kuwangulwa, kwe kuddukira ewa Munywanyi we Wannema e Ssese n’amusaba okumuwaayo ku basajja abalwanyi bamuyambeko.
Wannema ye mulwanyi eyali ayitibwa Kyobe Kyomubazi Ssekakozi
ng’alwanira mu bbanga. Kigambibwa nti, ono okuva e Ssese yabuuka bubuusi ne bamusanga e Buganda. Wano Abaganda we baamuweera erinnya lya Kibuuka kati abangu gwe bamanyi nga Kibuuka Omumbaale.
Musajja wa Ssekabaka Nakibinge ono yakubira ddala Bunyoro ng’asinziira mu bbanga era yatirimbula bangi. Ensobi gye yakola kwe kufuna omukazi Omunyoro gweyali
attidde ab’eηηanda. Omukazi ono yamukemakema okutuusa lweyamubbirako ekyama nti, yali alwana asinziira mu kire, era omukazi yategeeza ab’e Bunyoro nabo abaamukubira obusaale mukire lwe yaddamu okubalumba ne bamutta era yagwa
Mbaale mu Mpigi.
SSEKABAKA NAKIBINGE ATUUKA OKULWANYISA EMMULI
Ssekabaka Nakibinge yalwana nnyo entalo n’Abanyoro n’ekigendererwa
eky’okwongera okufuula Buganda ey’amaanyi. Lumu yali mu lutalo, amafumu ne gamuggwaako, naye olw’obuzira teyadda mabega, mukazi we Nannono yawalirizibwa okusongola emmuli nga bw’azimuwa ayongereyo olutalo era wano we waava erinnya rya Mulwanyammuli.
Entalo ezisinga Ssekabaka Nakibinge yaziwangula naye era yakisiza mukono mu ddwaaniro era kigambibwa nti, enjole ye yagwa mu bunnya n’ebulako amafi ire.
Kyokka ne mukyala we Nnaabagereka Nannono eyamusongoleranga emmuli ng’alwana, abalibwa mu Bannaabagereka ab’amaanyi mu Buganda anti ayogerwako ‘ng’omutabaazi alinga ejjinja’. azaala abaana abalenzi bana kyokka nga basatu ku bo baafuka ba Kabaka okuli; Mulondo Ssekajja, Jjemba Busungwe ne Ssuuna Kisolo.
Omulangira Nzigu ye yekka mu baana be ataalya bwakabaka. Ky’asinga okujjukirwako kwe kuleeta omulwanyi Kibuuka Abaganda
gwe baafuula lubaale w’entalo. Abangereza baazikula nga yali wa kyewuunyo, n’amagumba ge ne bagatwala e Bungereza okugasomako, kyokka olumu eyali Minisita
wa Buganda ow’ebyenjigiriza Abu Mayanja bwe yagenda e Bungereza yayogerezeganya ne Gavumenti yaabwe era ne bagakomyawo nga kati gakuumibwa mu myuziyamu y’eggwanga e Kittante