Omuvubuka ow'emyaka 18 abadde atunda enjaga, banne bamukakkanyeko ne bamukuba akakumbi ku mutwe n'afiirawo.
Tebakomye awo, omulambo gwe bagukumyako omuliro mu nnyumba mwe bamuttidde oluvannyuma lw'okubba ebintu bye byonna ebyomunnyumba ne babulawo.
Poliisi etutte embwa kyokka ng'ekifo kirinnyiriddwa, ne batasobola kubaako kye bazuula.
Attiddwa ye Isma Wagaluka 18 abadde omwetissi w'emigugu ng'abeera ku kyalo Nakisene mu muluka gw'e Nsaali mu Ggombolola y'e Bukula mu disitulikiti y'e Bugweri ,bwe bamulumbye awaka ne bamukuba akakumbi ku mutwe.
Poliisi ekutte mikwano gye ,okuli Tamimu Magumba 24, Maliki Kasadha 25, Najib Kisambira 23 ne Eyatu Zirabamuzaale 21 nga bonna bakukyalo ky'ekimu ekye Nakisene.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kasadha, agambye nti abakwate, babasanze n'ebimu ku bintu by'omugenzi ebyomunnyumba ebyabbiddwa
Ayongeddeko nti ono aludde ng'atundira enjaga mu makaage era ng'abavubuka bano gye bagigula. Omugenzi bamubbyeko ssente n'ebintu ebiwerako.