Abantu 16 bakwatiddwa lwa kubangula dembe ly'abantu nga Museveni azzaayo empapula

Abantu 16 abagambibwa okugezaako okutaataaganya bannakibuga ng'omukulembeze w'eggwanga agenda e Kyadondo okuzaayo empapula z'okwesimbawo, bakwatiddwa poliisi. 

Abantu 16 bakwatiddwa lwa kubangula dembe ly'abantu nga Museveni azzaayo empapula
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abantu 16 abagambibwa okugezaako okutaataaganya bannakibuga ng'omukulembeze w'eggwanga agenda e Kyadondo okuzaayo empapula z'okwesimbawo, bakwatiddwa poliisi. 

Abakwatiddwa, bakuumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala nga kigambibwa nti basangiddwa n'enjaga n'ebintu ebirala, ebitamiiza

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti kidiridde okussaawo obukuumi n'okulawuna okwamaanyi eri abayunifaamu n'abali mu ngoye za bulijjo ne babakwata. 

Agasseeko nti fayiro zaabwe zikolebwako era ng'ekiseera kyonna, bakutwalibwamu kkooti ku misango egyenjawulo.