Nnankulu w'ekibuga Kampala Dorothy Kisaka ng'ali wamu ne loodi meeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago basisinkanye abakulembeze b'ekibiina by'abavuzi ba ttakkisi abakolera mu kibuga.
Ensisinkano ebadde mu bimuli bya Meeya ku City Hall mu Kampala.
Ebibiina byonna ebitaano bikkiriziganyizza okutondawo ekibiina kimu mwe baba beegattira kye batuumye, Uganda Taxi Operators Federation (UTOF)
Kinajjukirwa nti ebibiina bya ttakkisi eby'enjawulo bizze bigugulana era ng'eky'okwegatta kireseewo esuubi mu mulimu gwa ttakkisi.

Dorothy Kisaka ne Loodi Mmeeya
Abavuzi ba ttakkisi, ba kondakita, wamu n'abakulira siteegi ez'enjawulo abawerera ddala 500, be beetabye mu nsisinkano eyeebyafaayo ebaddewo leero (Wednesday,March,05,2023)
Kisaka asanyukidde eky'ebibiina okwegatta n'ategeeza nti kireseewo esuubi naddala mu kaweefube aliwo ow'okulaba ng'obuyonjo mu kibuga bweyongera wansi w'enkola ya 'SmartCity'.
Kisaka agamba nti kati essira bagenda kulissa ku kusitula bya nfuna mu bannakampala obulamu bwabwe bwongere okubanyumirwa.

Abatakisi nga bali mu lukiiko n'abakulembera ekibuga
Mu kiseera ky'ekimu, Kisaka asisinkanye omubaka okuva mu kibiina kya naggagga Bill Gates, ekya Melinda Gates Foundation, okwongera okuggumiza enkolagana yaabwe ne KCCA ng'ekitongole mu kaweefube w'okutumbula amazzi amayonjo, n'eby'obuyonjo mu bitundu bya Kampala eby'enjawulo okutwalira awamu.
Bano abeebazizza olw'enkola ya WEEYONJE, gye basooka okuteekamu ssente.